bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 22
Deuteronomy 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 23 →
1
“Bw'olabanga ente ya muganda wo oba endiga ye ng'ebula, leka butafaayo; wabula laba nti ogizzaayo gy'ali.
2
Oba muganda wo tali kumpi, oba tomumanyi, ogitwalanga ewuwo, esigale eyo okutuusa muganda wo lw'alijja ng'aginoonya, awo n'ogimuddiza.
3
“Bw'otyo bw'okolanga ne ku ndogoyi, ne ku kyambalo na ku buli kyonna ekya muganda wo ekibanga kimubuzeeko; leka butakifaako.
4
“Bw'osanganga endogoyi ya muganda wo oba ente ye ng'egudde mu kkubo, leka butagifaako; omuyambangako ne mugisitulawo.
5
“Omukazi tayambalanga ebyambalo by'omusajja, n'omusajja ebyambalo by'omukazi; buli akola ekyo Omukama Katonda wo amwenyinyala.
6
“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku bbali w'ekkubo, oba ku ttaka, oba mu muti, ennyonyi enkulu ng'emaamidde ku bwana oba amagi, totwalanga enkulu n'obwana.
7
Enkulu gireke egende, obwana bwo oyinza okubwetwalira, olyoke obeere bulungi, owangaale ebbanga ggwanvu.
8
“Bw'ozimbanga ennyumba empya, akasolya ko okakugiranga n'ekisenge, oleme kussisa ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi, nga wabaddewo awanuse okuva ku kasolya.
9
“Ennimiro yo ey'emizabbibu togisigangamu nsigo bbiri za njawulo, sikulwa nga ne by'osizeemu n'ebibala by'emizabbibu byombi obifiirwa mu kitukuvu.
10
“Tolimisanga nte ng'ekaligiddwa wamu n'endogoyi.
11
“Toyambalanga kyambalo kitobeke, ebyoya by'endiga nga biri wamu ne wuzi za kitaani.
12
“Weekoleranga ebituttwa ku munagiro gwo gwe weebikkirira ku nsonda zaagwo ennya.
13
“Omusajja bw'awasanga omukazi, oluvannyuma lw'okwebaka naye n'amukyawa,
14
n'amuwaayiriza nga bw'amuweebuula nti: ‘Omukazi ono namuwasa, naye bwe namutuukirira, saamusangako kabonero ka bubeererevu,’
15
kitaawe w'omuwala ne nnyina ne mwannyina batwaliranga abakadde b'ekibuga eri ku mulyango gw'ekibuga obubonero obulaga nga yali mubeererevu.
16
Kitaawe w'omuwala agambanga abakadde b'ekibuga nti: ‘Omwana wange namuwa omusajja ono abeere mukazi we, kati amukyaye.
17
Amuwaayiriza ng'agamba nti: “Muwala wo saamusangako kabonero ka bubeererevu.” Naye biibino ebikakasa obubeererevu bwa muwala wange.’ Banjuluzanga ekikubiro mu maaso g'abakadde.
18
Abakadde b'ekibuga ekyo bakwatanga omusajja ne bamuweweenyula.
19
Bamusaliranga engassi ya sekeli eza ffeeza kikumi, z'aliriwa kitaawe w'omuwala, kubanga omusajja ono yaweebuula muwala wa Yisirayeli. Amusigazanga nga mukazi we, era tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.
20
“Oba ayogera kituufu, tewali kabonero ka bubeererevu,
21
omuwala bamutwalanga ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kye ne bamukuba amayinja n'afa, kubanga yakola eky'obugwagwa mu Yisirayeli bwe yakola obwamalaaya mu nnyumba ya kitaawe. Oteekwa okuggyira ddala ekibi kino mu mmwe.
22
“Omusajja bw'asangibwanga nga yeebase n'omukazi muka omusajja, bombi, omusajja eyeebase naye n'omukazi, battibwanga. Oteekwa okuggyirawo ddala ekibi kino mu Yisirayeli.
23
“Omusajja bw'asanganga eyo mu kibuga omuwala omubeererevu ayogerezebwa omusajja, amala yeebaka naye,
24
bombi mubafulumyanga ku wankaaki w'ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja, ne bafa, kubanga omuwala teyaleekaanako, sso nga yali mu kibuga, n'omusajja, kubanga yatoowaza muka munne. Muteekwa okuggyirawo ddala ekibi kino mu mmwe.
25
“Naye oba omusajja asanze eyo mu nsiko omuwala ayogerezebwa, amala amukwata ne yeebaka naye, yekka oyo y'afanga.
26
Omuwala temumukolanga kantu, kubanga takoze kibi kimugwaniza kufa; kino kifaanana ng'omusajja bw'afubutukira muganda we n'amutta,
27
n'omuwala ayogerezebwa yamusanga bw'omu ku ttale, yaleekaanako, naye tewaali amuwonya.
28
“Omusajja bw'asanganga omuwala embeerera atannayogerezebwa, amala amukwata ne yeebaka naye, ne basangirizibwa,
29
omusajja wa kuliyiranga kitaawe w'omuwala sekeli za ffeeza amakumi ataano, Omuwala amuwasanga kubanga amutoowazizza; tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34