bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 23
Deuteronomy 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
1
“Omusajja tawasanga muka kitaawe; tanyoomoolanga obuliri bwa kitaawe.
2
“Eyalaayibwa ng'enjagi zaatulisibwa oba nga zaasalibwako tajjanga mu lukuŋŋaana lw'Omukama.
3
Azaaliddwa mu nsonga, n'abaana be, n'okutuukira ddala ku bazzukulu ab'ezzadde ery'ekkumi tebayingiranga mu lukuŋŋaana lw'Omukama.
4
Omwammoni n'Omumowabu n'abaana baabwe, n'okutuukira ddala ku bazzukulu baabwe ab'ezzadde ery'ekkumi, tebayingiranga mu lukuŋŋaana lw'Omukama emirembe gyonna,
5
kubanga tebajja kubasisinkana na migaati na mazzi lwe mwava mu Misiri, era kubanga baagula Balaamu, mutabani wa Bewori ow'e Petori mu Aramu Nakarayimu akuvumirire.
6
Kyokka Omukama Katonda wo teyawuliriza Balaamu; okuvumirira kwe n'akufuula mukisa, kubanga Omukama Katonda wo yali akwagala.
7
Tobanoonyangako emirembe oba ebirungi bye balina ennaku zo zonna emirembe gyonna.
8
“Omwedomu tomwenyinyalanga, kubanga muganda wo. N'Omumisiri tomwenyinyalanga, kubanga wabeerayo ng'omugwira mu nsi ye.
9
Bazzukulu baabwe ab'ezzadde eryokuna bayinza okuyingira mu lukuŋŋaana lw'Omukama.
10
“Bw'osiisiranga okulumba abalabe bo, weewalanga buli kintu kibi.
11
Singa omu ku basajja bo abeera si mulongoofu olw'okwerooterera, afulumanga ebweru w'olusiisira; tagendanga munda mu lusiisira.
12
Bwe buwungeeranga anaabanga n'amazzi; enjuba bw'egwa n'alyoka akomawo mu lusiisira.
13
“Ebweru w'olusiisira oteekangayo ekifo gy'onoogendanga ng'oyagala okweyamba.
14
Obanga n'ekifumu eky'okweyambisa, ng'ogenze okufuluma, omalanga kusima kannya, bw'omala obubi bwo n'obuziikako ettaka.
15
Kubanga Omukama Katonda wo atambulatambula mu lusiisira lwo akukuume era akuwe abalabe bo; ensiisira zo zibeeranga ntukuvu aleme kutunula ku kintu kitajja n'akyukira eri, n'akulekerera.
16
“Omuddu bw'addukiranga ewuwo tomuwangayo eri mukama we.
17
Muleke abeere naawe wonna w'aliba alonze mu kimu ku bibuga byo, era tomunyigirizanga.
18
“Mu bawala ba Yisirayeli temubangamu malaaya wa mu kiggwa, era ne mu balenzi temubangamu malaaya wa mu kiggwa.
19
“Toleetanga mu nnyumba y'Omukama Katonda wo kirabo kya malaaya omukazi oba mpeera ya malaaya omusajja okusasulira oli kye yeetema; byombi Omukama Katonda wo abyenyinyala.
20
“Bw'owolanga muganda wo tomusabanga magoba, ku ssente, ku mmere oba ku kintu ekirala kyonna ekireeta amagoba.
21
Omugwira oyinza okumusaba amagoba, naye muganda wo tomusabanga magoba; Omukama Katonda lw'anaakuwa omukisa mu byonna emikono gyo bye gikola mu nsi gy'ogenda okuyingiramu ogitwale.
22
“Ng'obaddeko kye weeyama ew'Omukama Katonda wo, tolwangawo kukituukiriza, kubanga Omukama Katonda wo agenda kukikubanja, n'oba n'omusango.
23
Bw'olekangayo okweyama, toliba na musango.
24
Naye ekibanga kifulumye mu kamwa ko okikolanga, kubanga wayogera ng'oggye mu ggwe wekka n'osuubiza Omukama Katonda wo n'akamwa ko kennyini.
25
“Ng'ogenze mu nnimiro ya munno ey'emizabbibu, lya emizabbibu nga bw'oyagala, kyokka totekangako mu kisero.
26
Bw'ogendanga mu nnimiro ya munno ey'eŋŋano, oyinza okunogako ku birimba n'engalo zo; naye tokwatanga kiwabyo n'osala eŋŋano ye eyimiridde.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34