bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 32
Deuteronomy 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 33 →
1
“Ggulu, wuliriza, nzija kwogera; nsi, wulira ebigambo by'akamwa kange.
2
Enjigiriza yange egwe ng'enkuba, ebigambo byange biwandagale ng'omusulo, ng'ekire ky'enkuba ku muddo ng'oluwandaggirize ku ssubi.
3
Kubanga nzija kukowoola erinnya ly'Omukama; muyimbe obukulu bwa Katonda waffe.
4
“Ye Lwazi. By'akola bituukiridde, kubanga amakubo ge gonna matuufu. Katonda omwesigwa, atakola bitaliimu bwenkanya, mutuufu, wa mazima.
5
“Beeyisizza bubi gy'ali, tebakyali baana be olw'okuswaluka, wabula ezzadde eryonoonefu, ekkuppya.
6
Bwe mutyo bwe musiima Omukama, Ggwe eggwanga essiru, omutali ggezi? Si ye kitaawo eyakutonda, Eyakukola, eyakussaawo?
7
“Jjukira ebiseera eby'edda, lowooza ku mazadde agaayita; buuza kitaawo, ajja kukubuulira, bakulu bo, banaakugamba:
8
Ali Waggulu Ddala bwe yagabira amawanga obusika, bwe yatemaatema mu baana ba Adamu, yassizaawo amawanga ensalo ng'Abayisirayeli bwe benkana.
9
Kubanga omugabo gw'Omukama be bantu be, Yakobo, bwe busika bwe yagabana.
10
“Yamusanga mu ddungu, mu malungu amakalu agawuuma, n'amusiikiriza, n'amulabirira, n'amukuuma ng'emmunye y'eriiso lye,
11
ng'empungu bw'ekuuma ekisu kyayo, ne yeetooloolera awali obwana bwayo, n'eyanjuluza empawa zaayo okububaka, n'ebutwalira ku biwaawaatiro byayo.
12
Omukama yekka ye yamukulembera tewaaliyo lubaale w'ebweru yenna yali naye.
13
Yamwebagaliza ku nsozi z'ensi, n'amuliisa ebibala by'ennimiro, n'amuyonsa omubisi gw'enjuki oguva mu lwazi, n'omuzigo oguva mu nsozi ez'embaalebaale,
14
n'omuzigo oguva mu ggana n'amata agava mu kisibo, ko n'amasavu ag'endiga ennume, n'embuzi ennume eze Basani ez'olulyo, n'empeke z'eŋŋano ezisinga obulungi. Wanywa evviini, omusaayi gw'emizabbibu.
15
“Omwagalwa yagejja, n'aligita; ng'akkuse yagejja n'anyirira. Yaleka Katonda eyamukola n'anyooma Olwazi, Omulokozi we.
16
Baamukwasa obuggya ne balubaale baabwe abalala, ne bamunyiiza n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale ebyenyinyalwa.
17
Baatambirira misambwa, egitali Katonda, balubaale be baali batamanyi, abazze luno jjo, bajjajjaabwe be bataawanga kitiibwa.
18
Olwazi olwakuzaala waluleka ne weerabira Omukama eyakuzaala.
19
Omukama yalaba ne yeetamwa, kubanga batabani be ne bawala be bamunyiiza.
20
N'agamba nti: ‘Amaaso gange nzija kugabakweka ndabe enkomerero yaabwe bw'eneeba; kubanga zzadde bbambaavu, abaana omutali bwesigwa.
21
Bankwasizza obuggya n'ebitali Katonda, ne bansunguwaza n'ebitaliimu byabwe bye basinza; nange nzija kubakwasisa obuggya ku ggwanga omutali, mbanyiize n'eggwanga essiru.
22
Obuswandi bwange bukoleezezza omuliro, ogwokya ne gutuuka n'ekkuzimu mu magombe; gusenkenya ensi na buli kirime kyayo, n'emisingi gy'ensozi gugiteekedde omuliro.
23
Ndibasindikira kabenje ku kabenje n'obusaale bwange mbubamalireko.
24
Ndibasindikira enjala n'ebakozza, n'omusujja ogukonvubya ne kawumpuli ddekabusa; ndibasindikira amannyo g'ebisolo ebikambwe, ko obusagwa bw'emisota egyekululira mu nfuufu.
25
Ebweru ekitala kiribamalako abaana, mu nnyumba zaabwe eriba ntiisa nsa. Omulenzi avubuka n'omuwala embeerera, ebbujje wamu n'omusajja kinviivi balizikirira.
26
Nagamba nti: “Nzija kubasaasaanya, eky'okubajjukira nkiggyire ddala mu bantu,”
27
naye natya abalabe okwewaana, sikulwa ng'abalabe baabwe tebakitegeera ne bagamba nti: “Ffe tuwangudde, Omukama si ye yakola bino byonna.”
28
Anti bali ggwanga omutali ndowooza, temuli kutegeera.
29
Singa nno baali bagezi, banditegedde, bandimanye enkomerero yaabwe bw'eriba!
30
Omu awondera atya olukumi, oba ababiri ne baddusa omutwalo, okuggyako ng'olwazi lwabwe lubatunze, ng'Omukama abavuddemu?
31
“ ‘Anti olwazi lwabwe teruli nga Lwazi lwaffe, abalabe baffe bennyini bakikkiriza.
32
Omuzabbibu gwabwe gusibuka ku muzabbibu gw'e Sodoma, gwa mu nnimiro z'e Gomorra; emizabbibu gyabwe gya busagwa, ebirimba byabwe bikaawa;
33
evviini yaabwe, butwa bwa misota, obusagwa kattira obw'amasalambwa.
34
Ekyo sikikwese mu tterekero lyange sikisibidde mu mawanika gange?
35
Okuwoolera eggwanga kyange, nzija kusasula ng'obudde butuuse; mangu ekigere kyabwe kijja kuseerera. Olunaku lw'okuzikirira kwabwe lusembedde, enkomerero yaabwe ebajjira mangu.’
36
“Omukama aliramula abantu be asaasire abaweereza be, bw'aliraba ng'amaanyi gabawedde nga tewali asigadde muddu oba mwana wa ddembe.
37
Aligamba nti: ‘Balubaale baabwe bali ludda wa, olwazi gye baddukira;
38
balubaale abaalyanga amasavu g'ebitambiro byabwe, ne banywa evviini y'ebitone byabwe eby'okuyiwa? Basituke, bakuyambe! Bakuwe we weewogoma!
39
Mulabe nno nze Nzuuyo, teri Katonda mulala, wabula nze; nzita ne nzizaamu obulamu; nkuba, ate ne mponya; tewali ayinza kuwonya ali mu mikono gyange.
40
Ngolodde omukono gwange ne ndayira nti: “Nze nga ndi mulamu emirembe gyonna,
41
bwe ndiwagala ekitala kyange ne kituuka n'okumyansa, omukono gwange gukikwata okulamula, ndiwoolera eggwanga ku balabe bange, ndyesasuliza ku abo abankyawa.
42
Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, n'ekitala kyange kirikavvula ennyama: omusaayi gw'abattiddwa n'abasibe, emitwe gy'abagabe b'abalabe.”
43
“ ‘Amawanga, mujaguze n'abantu be, kubanga aliwoolera eggwanga olw'omusaayi gw'abaweereza be aliwoolera eggwanga ku balabe be, aliddaabiriza ensi y'abantu be.’ ”
44
Musa yajja ne Yoswa mutabani wa Nuunu n'atontoma ebigambo byonna eby'oluyimba luno ng'abantu bawulira.
45
Bwe yamaliriza okubuulira Yisirayeli yenna ebigambo ebyo byonna
46
n'abagamba nti: “Musse omutima ku bigambo byonna, bye nnangiridde ddala gye muli olwa leero, mulyoke mubiragire abaana bammwe bakwatenga era batuusenga ebigambo byonna eby'etteeka lino,
47
kubanga kino si kigambo bugambo omutali nsa, wabula bwe bulamu bwammwe. Olw'ekigambo kino mulisobola okuwangaalira mu nsi gye mugenda okuyingiramu mugitwale nga mumaze okusomoka Yorudani.”
48
Ku lunaku olwo lwennyini Omukama yagamba Musa nti:
49
“Yambuka ku lusozi Abarimu, ku lusozi Nebo, oluli mu nsi y'Abamowabu, emitala wa Yeriko, olabe ensi Kanaani, ensi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayeli ebeere obutaka.
50
Ku lusozi olwo lw'onoolinnya, gy'olifiira n'ogattibwa ku bantu bo, nga Aroni muganda wo bwe yafiira mu lusozi Ori n'agattibwa ku bantu be.
51
Kubanga temwali beesigwa gye ndi mu maaso g'Abayisirayeli ku mazzi g'e Meriba Kadesi, mu ddungu ly'e Zini, kubanga temwayoleka butuukirivu bwange mu Bayisirayeli.
52
Awo nno ensi ojja kugirengerera wala; tojja kuyingira mu nsi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayeli.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34