bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 16
Deuteronomy 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 17 →
1
“Okuzanga omwezi gwa Abibu, n'okuza Pasika y'Omukama Katonda wo, kubanga mu mwezi gwa Abibu Omukama Katonda wo lwe yakuggya mu Misiri ekiro.
2
Otambiranga Pasika y'Omukama Katonda wo ng'oggya mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye.
3
Toliirangako mugaati guzimbulukuse; okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse, omugaati gw'okubonaabona, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu. Bw'otyo, ennaku zonna ez'obulamu bwo, ojjukirenga olunaku lwe wava mu Misiri.
4
Wonna mu nsi yo, okumala ennaku musanvu temulabikangamu kizimbulukusa. Ennyama etambirwanga akawungeezi k'olunaku olusooka, tesulangawo okutuusa enkeera.
5
Totambiranga Pasika mu buli kibuga kyo Omukama Katonda wo ky'aliba akuwadde,
6
wabula mu kifo kyokka Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. Eyo gy'otambiriranga Pasika akawungeezi enjuba ng'egwa, ku lunaku lw'ojjuukirirako okuva kwo mu Misiri.
7
Ogifumbiranga mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze era mw'ogiriiranga; ku makya ositukanga n'odda mu weema zo.
8
Okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse; ku lwomusanvu oyitanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa olw'Omukama Katonda wo; tokolanga mulimu.
9
“Okuva ku lunaku lw'osooka okussa ekiwabyo ku ŋŋano ekyayimiridde, obalanga wiiki musanvu,
10
n'okuza embaga ya Wiiki olw'Omukama Katonda wo, ng'oweereza ekitambiro ekyeyagalire ng'ogerera ku Mukama Katonda wo nga bw'aliba akuwadde omukisa.
11
Osanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, ggwe, mutabani wo, muwala wo, omuddu wo, omuzaana wo, n'Omuleevi ali mu bibuga byo, omugwira, enfuuzi, ne nnamwandu abali ewuwo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye.
12
Ojjukiranga nga naawe wali muddu mu Misiri. Wekkaanye, amateeka gano ogatuusanga.
13
“Bw'omalanga okukuŋŋaanya by'okungudde eby'egguuliro lyo n'essogolero lyo, okuzanga embaga y'Ensiisira okumala ennaku musanvu,
14
ng'olya embaga eno, ojaguzanga n'essanyu, ggwe, omwana wo, mutabani wo, omuddu wo, omuzaana wo, Omuleevi, omugwira, enfuuzi ne nnamwandu abali mu bibuga byo.
15
Omalanga ennaku musanvu ng'okuliza Omukama Katonda wo embaga eno mu kifo Omukama ky'aliba alonze, kubanga Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu bibala byo byonna ne mu mirimu gyonna egy'emikono gyo; oliba mu ssanyu jjereere.
16
“Buli musajja yenna, aneeyolekanga emirundi esatu buli mwaka mu maaso g'Omukama Katonda wo, mu kifo ky'aliba alonze, ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukuse, ku mbaga eya Wiiki, ne ku mbaga ey'Ensiisira. Tajjanga mu maaso g'Omukama engalo ensa,
17
wabula buli omu aleetanga ekirabo okugerera ku by'alina, ng'Omukama Katonda wo bw'aliba akuwadde omukisa.
18
“Mu bibuga byo byonna Omukama Katonda wo by'aliba akuwadde, buli kika kyo okironderanga abalamuzi n'abaami; balamulanga abantu mu butuufu.
19
Tosalirizanga; teweekubiiranga; tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g'abagezi, era egootaanya ensonga z'abatuukirivu.
20
Ogobanga butuufu, butuufu bwokka, olyoke obeere mulamu, otwale n'ensi Omukama Katonda wo gy'akuwa.
21
“Teweesimbiranga mpagi za Asera oba omuti gwonna okumpi n'omwaliiro gw'Omukama Katonda wo gw'oliba omuzimbidde,
22
era tosimbanga mpagi ya jjinja. Omukama Katonda wo bino abikyawa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34