bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 27
Deuteronomy 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 28 →
1
Musa n'abakadde mu Yisirayeli baalagira abantu nti: “Mukwatenga ebiragiro byonna bye mbalagira olwa leero.
2
Bwe mulimala okusomoka Yorudani ne mutuuka mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, osimbanga amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni.
3
Owandiikangako ebigambo byonna eby'etteeka lino, ng'omaze okusomoka Yorudani, n'oyingira mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba.
4
“Bw'osomokanga Yorudani, osimbanga amayinja gano ku lusozi Ebali, nga bwe nkulagira olwa leero, ogasiiganga ennoni.
5
Ozimbirangayo Omukama Katonda wo omwaliiro, omwaliiro ogw'amayinja. Tokozesanga ekintu eky'ekyuma ku go.
6
Ozimbanga omwaliiro gw'Omukama Katonda wo n'amayinja amalamba; okwo n'oweererezaako Omukama Katonda wo ebitambiro ebyokye.
7
Oweererezangayo ebitambiro eby'okussa ekimu, n'olya, n'ojaguliza eyo mu maaso g'Omukama Katonda wo.
8
Owandiikanga ku mayinja ebigambo byonna eby'etteeka lino bulungi, nga bitangaavu.”
9
Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Yisirayeli yenna nti: “Yisirayeli, sirika era wulira: olwa leero Omukama akubaze ng'abantu b'Omukama Katonda wo.
10
Owuliranga eddoboozi ly'Omukama Katonda wo n'otuusa ebiragiro n'amateeka bye nkulagira olwa leero.”
11
Ku olwo era Musa n'alagira abantu nti:
12
“Bwe mumalanga okusomoka Yorudani, bano bayimiriranga ku lusozi Gerizimu okuwa abantu omukisa: ab'omu bika bya Simewoni, Leevi, Yuda, Yissakari, Yozefu ne Benyamiini.
13
Na bano bayimiriranga ku lusozi Ebali okulangirira ebikolimo: ab'omu bika bya Rubeni, Gaadi, Aseeri ne Zebuluni, Daani ne Nafutali.
14
Abaleevi balyogera eri buli Muyisirayeli mu ddoboozi ery'omwanguka nti:
15
“ ‘Avumirirwe oyo akola ekifaananyi ekyole oba ekisaanuuse ekya lubaale, Omukama kye yeenyinyala, omulimu gw'emikono gy'omuwoozi oba omuweesi, n'akiwaŋŋamya mu nkiso. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
16
“ ‘Avumirirwe anyooma kitaawe ne nnyina. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
17
“ ‘Avumirirwe asembezangayo ejjinja ly'ensalo za muliraanwa we. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
18
“ ‘Avumirirwe awabya muzibe ku kkubo. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
19
“ ‘Avumirirwe asaliriza omugwira, mulekwa ne nnamwandu. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
20
“ ‘Avumirirwe eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga anyoomodde obuliri bwa kitaawe. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
21
“ ‘Avumirirwe akabawala na buli kisolo kyonna. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
22
“ ‘Avumirirwe eyeebaka ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba n'omubbeere we. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
23
“ ‘Avumirirwe eyeebaka n'azaala mukazi we. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
24
“ ‘Avumirirwe attanga munne mu nkiso. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
25
“ ‘Avumirirwe alyanga enguzi okutta omuntu ataliiko musango. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.”
26
“ ‘Avumirirwe oyo atanywerera ku bigambo bya tteeka lino, n'atabituusa. Abantu bonna baanukulanga nti: “Amiina.” ’ ”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34