bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 8
Deuteronomy 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
1
“Wekkaanye, buli kiragiro kye nkulagira olwa leero okituusanga mulyoke mubeere balamu, mweyongere obungi era muyingire ensi mugitwale, ensi Omukama gye yalayirira bajjajjammwe.
2
Ojjukiranga olugendo lwonna Omukama Katonda wo lw'akuyisizzaamu mu ddungu emyaka gino amakumi ana, ng'agenderera okukutoowaza n'okukugeza, amanye ekyakuli ku mutima gwo, oba oli wa kukwatanga biragiro bye oba nedda.
3
Yakutoowaza n'akulumya enjala, ate n'akuliisa ne manu, ggwe ne bajjajjaabo gye mwali mutamanyi, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu lwa mugaati gwokka, naye n'olw'ekigambo kyonna ekifuluma mu kamwa k'Omukama.
4
Ebyambalo byo tebyayabirirako, n'ebigere byo tebyazimba mu myaka egyo amakumi ana.
5
“Kimanye nno mu mutima gwo nti ng'omuntu bw'agunjula omwana we, n'Omukama Katonda wo bwe yakugunjula.
6
Awo nno kwatanga ebiragiro by'Omukama Katonda wo, otambulirenga mu makubo ge, era omutyenga.
7
“Anti Omukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi, ensi ey'emigga n'ebidiba eby'amazzi, erina ensozi n'ebiwonvu omufubutuka ensulo z'amazzi,
8
ensi ey'eŋŋano, sayiri, emizabbibu, emikunyu, amakomamawanga, omuzigo gw'oliva n'omubisi gw'enjuki;
9
ensi mwe mutalijula kantu, mw'oliriira omugaati gwo awatali kujula; ensi ey'amayinja ag'ekyuma n'ensozi omusimwa ekikomo.
10
Bw'omalanga okulya n'okkuta, otenderezanga Omukama Katonda wo olw'ensi amakula gye yakuwa.
11
“Wekkaanye, teweerabiranga Omukama Katonda wo n'otofa ku biragiro bye, ennamula ye n'amateeka ge bye nkulagira olwa leero.
12
Oboolyawo bw'olimala okulya n'okkuta, n'ozimba amayumba amalungi n'ogasulamu,
13
amagana go n'ebisibo byo nga bigezze, ffeeza ne zaabu na byonna by'olina nga bikwalidde,
14
omutima gwo gwandiyinza okwewanika, ne weerabira Omukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu;
15
eyakukulembera mu ddungu eddene ery'entiisa, omwali emisota egy'obusagwa n'enjaba, ensi erakasidde omutaali tuzzi n'akatono; eyakuggyira amazzi mu lwazi olugumu;
16
eyakuliisa manu mu ddungu bajjajjaabo gye bataamanya, n'akutoowaza ng'agenderera okukugeza, olyoke obeerenga bulungi oluvannyuma.
17
“Wandiyinza okwegamba mu mutima gwo nti: ‘Obuzira n'amaanyi g'emikono gyange bye binkoledde obugagga buno.’
18
Wabula jjukira Omukama Katonda wo nti ye yakuwa amaanyi n'ofuna obugagga, ng'atuukiriza endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kyeraga olwa leero.
19
Naye bw'olyerabira Omukama Katonda wo, n'ogoberera balubaale abagwira, n'obasinza, n'obavunnamira, nkukakasiza ddala olwa leero nti mulizikiririra ddala.
20
“Bwe muligaana okuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda wammwe, nammwe mugenda kuzikirira ng'amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso gammwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34