bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 13
Deuteronomy 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 14 →
1
“Ebigambo byonna bye mbagambye mulabe nti mubituusanga; toyongerangako era tokendeezangako kantu n'akamu.
2
“Mu mmwe bwe musitukangamu omulanzi, oba omuloosi w'ebirooto n'akola akabonero oba ekyewuunyo,
3
akabonero oba ekyewuunyo ky'ayogedde ne kituukirira, n'akugamba nti: ‘Tugende tugoberere balubaale, tubaweereze,’ balubaale b'otomanyangako,
4
towulirizanga bigambo bya mulanzi oyo oba omuloosi, kubanga Omukama Katonda wammwe abeera abageza bugeza, alabe oba mumwagala n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna.
5
Omukama Katonda wammwe yekka gwe mubanga mugoberera, gwe mubanga mutya. Mukwatenga ebiragiro bye, muwulirizenga eddoboozi lye; oyo gwe mubanga muweereza, gwe mubanga munywererako.
6
Omulanzi oli, oba oyo omuloosi w'ebirooto, attibwanga, kubanga ayogera ebyo mujeemere Omukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu; akusendasenda kukuggya mu kkubo Omukama Katonda wo lye yakulagira. Ekibi kino mukiggyirangawo ddala mu mmwe.
7
“Singa muganda wo, oba omwana wo, oba muwala wo, oba mukazi wo ow'omu mikono gyo, oba mukwano gwo bwe muli ekimu, akusendasenda mu nkiso nti: ‘Tugende tuweereze balubaale,’ balubaale b'otaamanya ggwe ne kitaawo,
8
balubaale ab'amawanga agakwetoolodde, ag'okumpi n'ag'ewala, okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala,
9
tomugonderanga era tomuwulirizanga. Tomusaasiranga, togezangako kumuwonya oba kumuzibira,
10
wabula ottanga mutte. Mu kumutta omukono gwo gwe gumusookangako n'oluvannyuma emikono gy'abantu bonna.
11
Omukubanga amayinja n'attibwa, kubanga yali akusendasenda kukuggya ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
12
Olwo Yisirayeli yenna aliwulira n'atya, ne wataddayo kubaawo mulala yenna mu ggwe akola ekibi ekifaanana kityo.
13
“Bw'owuliranga mu kibuga ekimu, ku ebyo Omukama Katonda wo by'alikuwa okubeeramu, nga bagamba nti:
14
‘Abantu empongabyoya basituse mu ggwe, ne basendasenda ab'omu kibuga kyabwe nga babagamba nti: “Tugende tuweereze balubaale,” ’ balubaale be mutamanyangako,
15
onoonyerezanga n'obuuliriza mu byonna; bw'ozuulanga nga kituufu, nti ekyogerwa kikakafu, ddala ekyenyinyalwa ekyo kyakolerwa mu ggwe,
16
ab'omu kibuga ekyo bonna obattanga bussi n'ekitala, n'okizikiriza, buli kirimu, abantu n'ebisolo byabwe.
17
Omunyago gwamu gwonna ogukuŋŋaanyizanga wakati mu mbuga y'ekibuga, awo ekibuga n'omunyago gwamwo n'obyokera wamu byonna n'omuliro ng'ekitambiro ekyokere Omukama Katonda wo. Ekibuga kya kusigala ntuumu ya mirembe gyonna era tekiriddamu kuzimbibwa.
18
Tewabanga ku kintu na kimu ku ebyo ebisaliddwa okuzikirizibwa kisangibwanga naawe, Omukama alyoke aleke obusungu bwe obwesera, akusaasire, akuwe okwala nga bwe yalayirira bajjajjaabo,
19
bw'oliba owulidde eddoboozi ly'Omukama Katonda wo n'okwatanga ebiragiro bye byonna bye nkulagira olwa leero, n'okola ekituufu mu maaso ge.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34