bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 12
Deuteronomy 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 13 →
1
“Gano ge mateeka n'ebiragiro bye muteekwanga okutuusa mu nsi Omukama Katonda wa bajjajjammwe gy'agenda okukuwa ogitwale, ennaku zonna z'olimala mu nsi eyo.
2
“Muzikirizanga ebifo byonna amawanga ge mugenda okutwala we gasinziza balubaale baago, ku nsozi empanvu ne ku busozi, na buli wansi wa muti oguggumizza.
3
Mumenyangawo emyaliiro gyabwe, mwasaayasanga amayinja ge basimbye, empagi za Asera muzookyanga mu muliro, n'ebifaananyi bya balubaale bye basinza mubitemangawo, n'amannya gaabwe mugasangulangawo mu bifo ebyo.
4
Omukama Katonda wammwe temumusinzanga mutyo.
5
Wabula munoonyanga ekifo Omukama Katonda wammwe ky'aliba alonze mu bika byonna, gy'alissa erinnya lye olw'ekisulo kye; eyo gye mugendanga.
6
Eyo gye muweererezanga ebitambiro ebyokye n'ebitone byammwe; gye mutwalanga ebyekkumi, n'ebitone eby'emikono gyammwe, bye mweyamye n'ebyeyagalire, n'ebiggulanda okuva mu magana gammwe ne mu bisibo byammwe.
7
Eyo mu maaso g'Omukama Katonda wammwe, mmwe n'ab'omu maka gammwe bonna, gye muliiranga ne musanyukira mu byonna emikono gyammwe bye gikola, kubanga Omukama Katonda wammwe y'aliba abawadde omukisa.
8
“Temukolanga nga bwe tukola kaakati, buli omu nga bw'alaba kigwanidde.
9
Mukola mutyo kubanga temunnatuuka n'okutuusa kati mu nsi yammwe ey'ekiwummulo, obusika bwammwe, Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa.
10
Tewali kubuusabuusa mujja kusomoka Yorudani, mugenda okubeera mu nsi Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa ng'obusika bwammwe, muweere ku balabe bonna ababeetoolodde, mutuule ntende.
11
Mujja kutwalanga mu kifo Omukama Katonda wammwe ky'aliba alonze, gy'alissa erinnya lye, ebyo byonna bye mbalagira: ebitambiro byammwe ebyokye n'ebitone, ebyekkumi, ebitone eby'emikono gyammwe, n'amakula gammwe ge muliba mweyamye okuwa Omukama.
12
Eyo gye musanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe, bawala bammwe, abaddu n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, anti bo tebalina mugabo oba busika bye baafuna mu mmwe.
13
“Wekkaanye obutaweererezanga bitambiro byo ebyokye wonna w'oliba osanze.
14
Wabula mubiweererezenga awo wokka Omukama w'aliba alonze, mu kimu ku bika, era eyo gy'otuusizanga byonna bye nkulagira.
15
“Bw'obanga oyagadde okuttayo ku nsolo zo olye, ottiranga wonna w'osanze, eyo mu bibuga byammwe, n'olya nga bw'oyagala, ng'omukisa gw'Omukama Katonda gw'akuwadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu bonna bayinza okulyanga, nga bw'olya ennangaazi oba engabi.
16
Gwo omusaayi togulyanga, oyiwanga muyiwe ku ttaka ng'amazzi.
17
“Eyo mu bibuga byo toliirangayo ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo ebisooka, era toliirangayo byonna ebiggulanda mu ggana ne mu kisibo kyo, n'ebitone by'oliba weeyamye okuwa, n'ebyeyagalire, n'ebitone by'emikono gyo.
18
Wabula mubiriiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, omuddu n'omuzaana wo, n'Omuleevi ali mu bibuga byo. Osanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo mu byonna emikono gyo bye gikola.
19
Wekkaanye, tolekereranga Muleevi ebbanga lyonna ly'olibeera mu nsi yo.
20
“Omukama Katonda wo bw'aligaziya ebitundu byo, nga bwe yakusuubiza, n'ogamba nti: ‘Njagala kulya ku nnyama,’ ng'oyoyezza okulya ku nnyama, olyanga ennyama nga bw'oyagala.
21
Ekifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze okussaamu erinnya lye bwe kiriba ewala, oggyanga mu ggana lyo oba mu kisibo kyo n'otta, Omukama by'aliba akuwadde, nga bwe nakulagira, n'olya nga bw'oyagala eyo mu bibuga byo.
22
Mulyanga nga bwe mulya ennangaazi oba engabi; abalongoofu n'abatali balongoofu bonna bayinza okulya.
23
Gwo omusaayi togulyanga; kubanga omusaayi bwe bulamu; n'olw'ekyo tolyanga bulamu wamu na nnyama.
24
Omusaayi togulyanga, wabula oguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
25
Togulyanga, olyoke obeerenga bulungi, ggwe n'abaana bo abalikuddirira, kubanga oliba okoze ekisanyusa mu maaso g'Omukama.
26
By'obanga owongedde Omukama, oba bye weetemye okumuwa, obireetanga mu kifo Omukama ky'aliba alonze.
27
Ennyama, n'omusaayi eby'ekitambiro kyo ekyokye obiweererezanga ku mwaliro gw'Omukama Katonda wo; omusaayi gw'ebitone byo guyiibwanga ku mwaliiro, ennyama yo oyinza okugirya.
28
Ofangayo okutuusa ebigambo byonna bye nkulagira, olyoke obeerenga bulungi n'abaana bo abalikuddirira, kubanga oliba okoze ekirungi era ekituufu mu maaso g'Omukama Katonda wo.
29
“Omukama Katonda ajja kukumalirawo amawanga g'ogenda okulumba ogatwale. Bw'oliba omaze okugagobawo, ng'otebenkedde mu nsi yaabwe,
30
nga gamaze okuzikirizibwa mu maaso go, wekkaanye, tokemebwanga n'oyagala okumanya ku balubaale baabwe, ng'obuuzabuuza nti: ‘Gano amawanga gaaweerezanga gatya balubaale baago? Nange bwe nzija okukola.’
31
Tosinzanga otyo Mukama Katonda wo; kubanga byonna ebyenyinyalwa bye bakola nga basinza balubaale baabwe Omukama abikyawa; batuuka n'okwokya mu muliro batabani baabwe ne bawala baabwe olwa balubaale baabwe.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34