bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 28
Deuteronomy 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 29 →
1
“Bw'oliwuliriza eddoboozi ly'Omukama Katonda wo, n'ofaayo okutuusa ebiragiro bye bye nkulagira olwa leero, Omukama Katonda agenda kukusukkulumya okire amawanga gonna agali ku nsi.
2
Emikisa gino gyonna girikujjako ne gikuwerekera, kasita oliba ng'owulidde eddoboozi ly'Omukama Katonda wo:
3
“Oliweebwa omukisa mu kibuga, oliweebwa omukisa mu kyalo.
4
Ezzadde ly'olubuto lwo liriweebwa omukisa, n'ebibala by'ettaka lyo, n'ezzadde ly'ensolo zo: obuyana bw'amagana go n'obuliga bw'ebisibo byo.
5
Ekisero n'ekibbo kyo mw'ogoyera obutta biriweebwa omukisa.
6
Oliweebwa omukisa ng'oyingira; oliweebwa omukisa ng'ofuluma.
7
Abalabe bo abakusitukiramu Omukama alibakuwanga ne balinnyibwako awo mu maaso go; okukulumba balifulumanga mu kkubo limu, naye okukudduka balifulumiranga mu makubo musanvu.
8
Omukama aliwa omukisa amawanika go, na byonna emikono gyo bye gikola. Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu nsi gy'agenda okukuwa.
9
“Omukama agenda kukufuula ggwanga lye ttukuvu, nga bwe yakulayirira, kasita olikwata ebiragiro by'Omukama Katonda wo, n'otambulira mu makubo ge.
10
Olwo amawanga gonna ag'omu nsi galiraba nti oyitibwa linnya lya Mukama, ne gakutya.
11
“Omukama agenda kukujjuza ebirungi byonna: ezzadde ly'olubuto lwo, ezzadde ly'ensolo zo, ebibala by'ettaka lyo, mu nsi Omukama gye yalayirira bajjajjaabo okukuwa.
12
Agenda kuggula eggulu, eggwanika ly'ebirungi bye, awe ettaka lyo enkuba mu budde bwayo, awe n'omukisa emirimu gyonna egy'emikono gyo. Onoowolanga amawanga mangi, naye ggwe nga tewali gwe weewolako.
13
Omukama agenda kukukulembezangamu, si kukukoobeza. Kasita oliwulira ebiragiro by'Omukama Katonda wo bye nkulagira olwa leero, n'obikwata, n'obituusa, olwo ggwe onookiranga, toosembenga.
14
Towunjukanga ku bigambo bye nkulagira olwa leero n'odda ku ddyo oba ku kkono, n'ogoberera balubaale abagwira, n'obasinza.
15
“Bw'oliba towulirizza ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'otokwata na kutuusa biragiro bye byonna n'amateeka bye nkulagidde olwa leero, ebikolimo bino bigenda kukujjira bikugwire:
16
“Olivumirirwa mu kibuga, olivumirirwa mu kyalo.
17
Ekisero n'ekibbo kyo mw'ogoyera obutta birivumirirwa.
18
Ezzadde ly'olubuto lwo lirivumirirwa, era n'ebibala by'ettaka lyo, n'obuyana bw'omu magana go, n'obuliga bw'omu bisibo byo.
19
Olivumirirwa ng'oyingira, olivumirirwa ng'ofuluma.
20
“Omukama alikusindikira ebikolimo, okutabuka n'okuvumibwa mu mirimu gyonna egy'emikono gyo, okutuusa lw'alikusaanyaawo, okutuusa lw'alikuzikiriza amangu olw'ebikolwa byo ebibi bwe wamuvaako.
21
Olwo Omukama alikubonereza n'endwadde okutuusa lw'alikusaanyaawo ku nsi gy'ogenda okuyingira ogitwale.
22
Omukama alikubonereza n'endwadde ezikenenya, omusujja, ebizimba, olubabu lw'omusana, ekyeya, nnabbambula n'ebimera okugengewala ebirikubonyaabonya okutuusa lw'olizikirira.
23
Eggulu erikuli waggulu liriba lya kikomo, n'ettaka kw'olinnye liriba lya kyuma.
24
Enkuba y'omu nsi yo Omukama aligifuula nfuufu na lufufugge; eritonnya okuva ku ggulu okutuusa lw'olisaanawo.
25
Omukama alikuwaayo n'ofufuggazibwa mu maaso g'abalabe bo; olifulumira mu kkubo limu ng'obalumba, naye olikwata amakubo musanvu ng'obadduka; olifuuka ekyesisiwaza mu maaso g'obwakabaka bwonna obw'ensi.
26
Omulambo gwo guliba mmere ya binyonyi byonna eby'omu bbanga n'ebisolo by'oku nsi; tewaliba abigobako.
27
“Omukama alikubonereza n'amayute g'e Misiri, ebizimba, olukuku, ne namusuna ebitalibaako abiwonya.
28
Omukama alikubonereza n'eddalu, n'okuziba amaaso, n'okuwunga.
29
Oliwammantanga mu ttuntu nga muzibe bw'awammanta mu nzikiza; amakubo go tegalikulamira. Jjo na luli olinyigirizibwa n'onyagibwa, naye tolifuna akudduukirira.
30
“Oliyogereza omukazi, omulala ne yeebaka naye. Olizimba ennyumba n'otogisulamu. Olisimba ennimiro y'emizabbibu, naye ebibala byayo tolibirya nako.
31
Ente yo eribaagirwa awo ng'olaba, n'otogirya nako. Endogoyi yo erikunyagibwako ng'olaba, n'etekuddizibwa. Endiga zo ziriweebwa abalabe bo, ne wataba aziwonya.
32
Batabani bo ne bawala bo baliweebwa eggwanga eddala, amaaso ne gakuyimbaala ng'otunula olunaku lwonna obalindirira, ate nga mu mukono gwo temuli na twanyi.
33
Ebibala by'ettaka lyo na byonna bye wateganira abantu b'otomanyi bagenda kubirya; kimu kyokka ky'olifunayo: kunyigirizibwa na kubetentebwa ennaku zonna.
34
Oligwa eddalu olw'ebyo by'oliraba.
35
Omukama alikubonereza ne kookolo atawona ku maviivi ne ku magulu, wenna alikujjula okuva ku bigere byo okutuuka mu kawompo ko.
36
“Ggwe ne kabaka wo gw'oliba weerondedde akufuge Omukama alibatwala mu ggwanga lye mutamanyangako. Oliweerereza eyo balubaale ab'ebiti, n'amayinja.
37
Olifuuka ekintu ekiwuniikiriza, eky'okunyumyako n'eky'okusekerera mu mawanga gonna Omukama gy'alikugobera.
38
“Ensigo nkumu olizisuula mu ttaka n'okungulayo butono, kubanga enzige zigenda kuzirya.
39
Olisimba emizabbibu, naye toliginywako vviini, toliginogako bibala, kubanga envunyu zigenda kugirya.
40
Oliba n'emiti gy'oliva wonna mu nsi yo, naye omuzigo toligweyambisa, kubanga oliva zo zigenda kukunkumuka.
41
Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaliba babo, kubanga bagenda kutwalibwa mu busibe.
42
Enzige zigenda kwezza emiti gyo gyonna, n'ebirime by'ensi yo.
43
Omugwira ali mu nsi yo, agenda kukuyitako ayitimuke, ate ggwe ogende ng'osereba.
44
Ye agenda kukuwolanga, naye ggwe nga tosobola kumuwola; aliba mu maaso, ggwe n'oba ennyuma.
45
“Ebikolimo bino byonna bigenda kukugwira; birikuwondera ne bikukwata, okutuusa lw'olizikirira, kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, tewakwatanga biragiro bye na mateeka ge bye yakulagira.
46
Biriba akabonero n'ekikuuno gy'oli ne mu zzadde lyo emirembe gyonna.
47
“Kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo mu ssanyu n'omutima ogujaguza mu biseera we wabeerera obulungi,
48
awo nno oliweereza omulabe wo Omukama gw'alikusindikira, mu njala, mu nnyonta, mu kuyita obwereere, ne mu bwavu. Alikussa ekikoligo eky'ekyuma ku nsingo yo okutuusa lw'alikuzikiriza.
49
“Omukama alikuleetera eggwanga eriva ewala eyo ku nkuzi y'ensi, nga lijja ng'empungu ewuuma ng'ekkirira okukwakkula, eggwanga ly'otoyinza kutegeera lulimi lwalyo,
50
eggwanga eritunuza entiisa, eritassa kitiibwa mu mukadde, eritasaasira mwana muto.
51
Lirikavvula ezzadde ly'ebisolo byo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirira. Teririkulekera ŋŋano, vviini nsu wadde omuzigo, obuyana mu magana go n'obuliga mu bisibo byo, okutuusa naawe ng'ozikiridde.
52
Lirikuzingiza mu bibuga byo byonna mu nsi yo, okutuusa bbugwe wo akoma eyo waggulu, aliko n'ebigo, gwe weesiga, lw'aligwa ku ttaka. Lirizingiza ebibuga mu nsi yonna Omukama Katonda wo gy'alikuwa.
53
Okukuzingiza kugenda kukuleetera obuyinike n'ennaku otuuke n'okulya ezzadde ly'olubuto lwo, ennyama y'abawala bo ne batabani bo Omukama Katonda wo b'aliba akuwadde.
54
Omusajja omugonvu ennyo era ow'eggonjebwa mu mmwe alikalalira muganda we, ne mukazi we ow'omu mikono gye, n'abaana be abaliba bakyasigaddewo,
55
nga tabagabirako na ku nnyama y'abaana be gy'aliba alya, kubanga takyalinawo kalala konna n'olw'obuyinike n'ennaku omulabe wo by'aliba akutaddemu olw'okuzinda ebibuga byo byonna.
56
Omukazi omugonvu era ow'eggonjebwa mu mmwe, olw'eggonjebwa n'obugonvu nga taganya na kigere kye kulinnya ku ttaka, alikalalira bba ow'omu mikono gye, ne mutabani we ne muwala we,
57
ekisungwa, n'abaana be b'azaala, kubanga alibaliira eyo mu nkiso olw'obuyinike n'ennaku omulabe wo by'aliba akutaddemu olw'okuzinda ebibuga byo.
58
“Singa tolikwata n'otuusa ebigambo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, n'ototya linnya lino ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Omukama Katonda wo,
59
Omukama agenda kukusindikira ebibonerezo eby'entiisa, ebibonerezo ku zzadde lyo, ebibonerezo ebinene ebitakutuka, n'endwadde embi ezitatadde.
60
Alikuleetera endwadde zonna ez'e Misiri ze watya, ne zikwesibako.
61
Omukama era alikuleetera n'endwadde zonna n'obubenje ebitawandiikiddwa mu Kitabo ky'Etteeka kino okutuusa ng'ozikiridde.
62
Mmwe mu kusooka abaali benkana emmunyeenye z'eggulu obungi, kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, mugenda kusigala batono.
63
Nga Omukama bwe kyamusanyusa okubawa okwala mu bingi n'abongera obungi, bw'atyo era bw'alisanyuka okubazikiriza n'okubeerawo, muggweremu ddala mu nsi mw'ogenda okuyingira ogitwale.
64
Omukama agenda kukusaasaanya mu mawanga gonna okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala, eyo gy'oliweerereza balubaale ab'ebiti n'amayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.
65
Ne mu mawanga ago tolifuna buweerero, n'ekigere kyo teriba na we kiwummulira. Eyo Omukama alikuweerayo omutima omweraliikirivu, amaaso agafuuyiriddwa olw'okulindirira, n'omutima oguterebuse.
66
Obulamu bwo bunaabanga ku bunkenke, ng'oli mu kutya ekiro n'emisana, nga tomanyi kinaakutuukirira.
67
Ku makya ng'ogamba nti: ‘Singa nno buzibye,’ n'akawungeezi nti: ‘Singa nno bukedde,’ olw'okutya okuliba mu mutima gwo, n'olw'ebyo by'oliba olabye.
68
Omukama alikuzza mu Misiri mu maato mu kkubo lye nakusuubiza nti toliddamu kuliraba; eyo gye mulyetundira mu balabe bammwe mubeere baddu na bazaana baabwe, naye tewaliba abagula.”
69
Bino bye bigambo by'endagaano Omukama gye yalagira Musa akole n'Abayisirayeli mu nsi y'e Mowabu, ng'oggyeeko eri gye yakola nabo ku Korebu.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34