bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 26
Deuteronomy 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 27 →
1
“Bw'oyingiranga mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ng'obusika, ng'omaze okugitwala n'ogibeeramu,
2
oddiranga ku bibala ebisooka eby'ebibala byonna eby'ettaka lyo by'obanga okungudde mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, n'obissa mu kisero n'obitwala mu kifo Omukama Katonda wo ky'alibanga alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye.
3
N'ogenda eri kabona abeerangawo mu budde obwo n'omugamba nti: ‘Olwa leero njatula mu maaso g'Omukama Katonda wo nti nnyingidde mu nsi gye yalayirira bajjajjaffe nti aligituwa.’
4
“Kabona agenda kuggya ekisero mu mikono gyo akisse mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama Katonda wo.
5
Olwo olyatula mu maaso g'Omukama Katonda wo nti: ‘Kitange yali Mwaramu, mubungeese; yakkirira mu Misiri, n'abantu batono, n'afuuka eggwanga ddene, ery'amaanyi, ery'abantu abangi.
6
Abamisiri baatutulugunya ne batubonyaabonya nga batussaako emirimu emikakali.
7
Naye twakoowoola Omukama Katonda wa bajjajjaffe, n'awulira omulanga gwaffe, n'alaba obunaku bwaffe, okutegana kwaffe n'okunyigirizibwa.
8
Omukama n'atuggya mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, n'entiisa nnene n'obubonero n'ebikuuno.
9
Yatuyingiza mu kifo kino, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
10
Nzuuno kati, Mukama, ndeeta ebisooka eby'ebibala by'ettaka bye wampa.’ “Ekisero okissanga awo mu maaso g'Omukama Katonda wo, oluvannyuma n'ovunnama mu maaso g'Omukama Katonda wo.
11
Ojagulizanga mu birungi byonna Omukama Katonda wo by'aliba akuwadde, ggwe n'amaka go, n'Abaleevi, n'abagwira abali mu mmwe.
12
“Bw'omalanga okuggyako ekyekkumi eky'ebibala byo byonna mu mwaka ogwokusatu, omwaka ogw'ekyekkumi, okiwanga Omuleevi, omugwira, mulekwa, ne nnamwandu, baliire eyo mu bibuga byo bakkute.
13
Olwo n'oyogera bw'oti mu maaso g'Omukama Katonda wo: ‘Ekitundu ekitukuvu nkiggye mu nnyumba yange ne nkiwa Omuleevi, omugwira, mulekwa ne nnamwandu okusinziira ku biragiro byo byonna nga bwe wandagira. Saava ku biragiro byo era saabyerabira.
14
Ku byo saalina kye nalyako nga ndi mu kukungubaga, mpaawo kye naggyako nga siri mulongoofu, saalina ku kyo na kimu kye nawa mufu. Nawulira eddoboozi ly'Omukama Katonda wange, byonna ne mbituusanga nga bwe wandagira.
15
Yima mu ggulu, otunule wansi ku maka go amatukuvu, owe omukisa abantu bo Yisirayeli n'ensi gye watuwa nga bwe walayirira bajjajjaffe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’
16
“Olwa leero Omukama Katonda wo akulagidde ogoberere amateeka gano n'ebiragiro bye obituuse n'omutima gwo gwonna n'omwoyo gwo gwonna.
17
Naawe olwa leero olonze Omukama abeere Katonda wo, n'olagaanya okutambulira mu makubo ge, okukwata amateeka ge, ebiragiro bye n'ennamula ye, n'okumuwulira.
18
N'Omukama olwa leero akakasizza mubeere bantu be, ekkula lye, nga bwe yakugamba, era ng'oli wa kukwatanga ebiragiro bye byonna.
19
Ajja kukuyitimusa mu kitiibwa, mu ttutumu ne mu bukulu okusinga amawanga gonna ge yakola. Olibeera ggwanga ttukuvu eri Omukama Katonda wo, nga bwe yayogera.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34