bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 20
Deuteronomy 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 21 →
1
“Bw'ogendanga ku lutalo okulwanyisa abalabe bo, n'olaba abeebagazi, ebigaali n'obunene bw'eggye ly'abalabe nga bingi okusinga ggwe by'olina, tobatyanga, kubanga Omukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri aliba naawe.
2
Bw'obanga osemberedde olutalo, kabona ajjanga n'ayimirira n'ayogera eri eggye
3
nti: ‘Wulira Yisirayeli; olwa leero mugenda okukwatagana n'abalabe bammwe; omutima gwammwe guleme kutekemuka, temutya, temukubwa ncukwe era temutiitiira olw'okubeera bo,
4
kubanga Omukama Katonda wammwe y'agenda nammwe, ye mu kifo kyammwe y'ajja okulwana n'abalabe bammwe abawanguze.’
5
“Abakulu b'ebibinja balangiriranga eri eggye nti: ‘Waliwo n'omu eyazimba ennyumba empya atannagitukuza? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'afiira mu lutalo, ate omulala n'agitukuza.
6
“ ‘Waliwo n'omu eyasimba emizabbibu atannaba kugiryako? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'afiira mu lutalo, ate omuntu omulala n'agyeriira.
7
“ ‘Waliwo n'omu eyayogereza omukazi n'atamuwasa? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'afiira mu lutalo, ate omuntu omulala n'amuwasa.’
8
“Ebyo bwe biggwanga okwogera, abakulu b'ebibinja bagattangako nti: ‘Waliwo yenna atidde oba ow'omutima ogumutekemuse? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'aleetera baganda be okutekemuka mu mutima.’
9
“Abakulu b'ebibinja bwe bamalanga okwogera eri eggye, ne bassa abagabe ku bantu.
10
“Bw'ogendanga okulumba ekibuga, osookanga n'oweereza obubaka obw'emirembe.
11
Bwe bakkirizanga emirembe ne bakuggulirawo enzigi, abantu bonna abakirimu ba kussibwanga ku kasanvu bakuweerezenga.
12
Bwe bagaananga emirembe, ne bakuggulako olutalo, ekibuga okizingizanga.
13
Omukama Katonda wo bw'akikuwanga mu mikono gyo, buli musajja yenna akirimu omuttanga n'ekitala.
14
Bo abakazi n'abaana, ebisolo by'awaka n'ebirala ebiri mu kibuga, obyetwaliranga ng'omunyago gwo. Weeriiranga ku by'onyaze mu balabe bo, Omukama Katonda wo by'akuwadde.
15
“Bw'otyo bw'okolanga ebibuga ebikuli ewala ennyo, ebitali bibuga bya mawanga gano ag'okumpi.
16
Naye mu bibuga Omukama Katonda wo by'agenda okukuwa tolekangamu ekintu kyonna ekissa omukka.
17
Bano mubawonganga okuzikirizibwa ne mbazikiririza ddala: Abakitti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizzi, Abakivi, n'Abayebusi, ng'Omukama Katonda wo bwe yakulagira.
18
Kubanga bagenda kubayigiriza okukola ebyenyinyalwa byonna bo bye bakola nga basinza balubaale baabwe, ne mukola mutyo ekibi eri Omukama Katonda wammwe.
19
“Bw'omalanga ebbanga eggwanvu ng'ozingizza ekibuga okirwanyise okiwambe, emiti gyakyo togizikirizanga togissangako mbazzi ogiteme, kubanga okyasobola okulyako ebibala. Togitemanga. Abaffe, emiti egiri mu nnimiro nagyo bantu nti olyoke ogizinde?
20
Kyokka emiti gy'omanyi nti si gya bibala, oyinza okugitema n'ogyeyambisa mu by'okuzingiza ekibuga ekiba kibalwanyisa okutuusa lwe kigwa.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34