bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Deuteronomy 18
Deuteronomy 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 19 →
1
“Bakabona, be Baleevi, kwe kugamba ekika kyonna ekya Leevi, tebaligabana mugabo oba busika wamu na Yisirayeli. Baliryanga ku bitone by'Omukama ebimuweerezebwa n'omuliro; buno bwe buliba obusika bwabwe.
2
Tebaabenga na busika mu baganda baabwe; anti Omukama yennyini bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
3
“Guno gwe mugabo oguddira bakabona okuva ku bantu abatambira ente ennume oba endiga: omukono, emba zombi n'ebyenda.
4
Onoobawanga n'ebibala byo ebisooka eby'eŋŋano, n'ebisooka ku vviini ensu n'omuzigo, n'ebyoya by'endiga zo eby'olumwa olusooka.
5
Anti Omukama Katonda wo ye ne batabani be yabaawula mu bika byo byonna, okuyimirira baweerezenga mu linnya ly'Omukama emirembe gyonna.
6
Omuleevi bw'ayagalanga okuva eyo gy'ali mu bibuga byo, agende abeere mu kifo Omukama ky'aliba alonze, kino ng'akikoze mu mwoyo mulungi,
7
akkirizibwa okuweereza mu linnya ly'Omukama Katonda we nga baganda be bonna Abaleevi abaweereza mu kifo ekyo mu maaso g'Omukama.
8
Wa kufunanga kyenkanyi ku mugabo gwe bagabana, newandibadde nga ye yafunayo dda ku kantu bwe yatunda bye yali ow'okusikira ku kitaawe.
9
“Bw'oyingiranga mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa, toyiganga okuyisa empisa ezeenyinyalwa ez'amawanga ago.
10
Mu ggwe temubangamu awonga mutabani we oba muwala we mu muliro, oba akola eby'obulaguzi, omusawo w'emizimu, asoma obubonero, omulogo,
11
asindika ebitambo, eyeebuuza ku mmandwa, n'asamirira emizimu oba ayeebuuza ku bafu.
12
Anti ebyo byonna Omukama abyenyinyala; era lwa kubeera ebyo Omukama Katonda wo kyaliva abagoberawo amawanga ago.
13
Obeeranga mutuufu mu maaso g'Omukama Katonda wo nga toliiko musango.
14
“Amawanga ago ge mugenda okutwala, bawuliriza abalaguzi n'abalogo, naye ggwe Omukama Katonda wo takukkiriza kukola bw'otyo.
15
Omukama Katonda wo alibasibusiza mu mmwe omulanzi ali nga nze okuva mu baganda bammwe; oyo omuwuliranga.
16
Kino kye wasaba Omukama Katonda wo ku Korebu, ekibiina lwe kyakuŋŋaana, omale ogambe nti: ‘Mpa obutaddamu kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange n'okulaba omuliro guno ogwaka guti, sikulwa nga nfa.’
17
Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Byonna bye bayogedde birungi;
18
ku lwabwe nzija kusitusa omulanzi ali nga ggwe nga mmuggya mu baganda baabwe; nzija kussa ebigambo byange mu kamwa ke, alibagamba byonna bye ndiba mmulagidde.
19
Omuntu yenna ataliwulira bigambo byange by'alyogera mu linnya lyange ndimusaba annyonnyole.
20
Naye omulanzi alyetumiikiriza okwogera mu linnya lyange nze bye simutumye, oba alyogera mu linnya lya balubaale, attibwanga buttibwa.
21
Oyinza okwebuuza nti: “Mmanya ntya nti ekigambo ekyo Omukama si y'akyogedde?”
22
Omulanzi bw'anaalanganga mu linnya ly'Omukama, ky'alanze ne kitatuukirira, ng'omanya nti ekyo Omukama si ye yakyogera; omulanzi oyo yeetumiikiriza bwetumiikiriza; oyo tomutyanga.’
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34