bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 1
Exodus 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 2 →
1
Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaayingira mu Misiri ne Yakobo n'ab'omu nnyumba zaabwe.
2
Lewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda;
3
Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini;
4
Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
5
Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu (70). Naye ye Yusufu yali yabeera dda mu Misiri.
6
Yusufu, ne baganda be bonna, n'ab'omu mulembe ogwo gwonna ne bafa.
7
Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula mu nsi yonna ey'e Misiri.
8
Awo kabaka omuggya ataamanya Yusufu, n'alya obwakabaka.
9
N'agamba abantu be nti, “Mulabe, abaana ba Isiraeri bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga;
10
kale tubasalire amagezi, baleme okweyongera obungi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe okutulwanyisa era n'okututolokako.”
11
Kyebaava babateekako ababakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emizibu ennyo. Ne bazimbira Falaawo Pisomu ne Lamusesi, okuba ebibuga eby'amaterekero.
12
Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya abaana ba Isiraeri, n'abaana ba Isiraeri gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne banakuwala nnyo olw'abaana ba Isiraeri;
13
ne babatuntuza nnyo n'emirimu egy'amaanyi,
14
ne bakaluubiriza obulamu bwabwe n'emirimu emizibu, egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga n'amaanyi mu nsuku ne mu nnimiro zaabwe nga tebabasaasira.
15
Awo Kabaka w'e Misiri n'agamba Sifira ne Puwa, abaazaalisanga Abaebbulaniya nti,
16
“Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga, naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.”
17
Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu.
18
Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti, “Lwaki mukola bwe mutyo, okuleka abaana ab'obulenzi nga balamu?”
19
Abazaalisa ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga bo b'amaanyi, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga baamaze dda okuzaala.”
20
Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa; abaana ba Isiraeri ne beeyongera obungi, ne baba baamaanyi nnyo.
21
Olw'okubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.
22
Falaawo n'alagira abantu be bonna, n'abagamba nti, “Buli mwana ow'obulenzi alizaalibwa Omwebbulaniya mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40