bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 13
Exodus 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 14 →
1
Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti,
2
“Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo, ye wange.”
3
Musa n'agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yabaggya mu kifo ekyo; tebalyanga ku migaati egizimbulukusibbwa.
4
Ku lunaku luno, mu mwezi ogwa Abibu lwe munaavaamu.
5
Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.
6
Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu; wanaabanga embaga eri Mukama.
7
Emigaati egitazimbulukusiddwa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukusibbwa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.
8
Era onoomugambanga omwana wo ku lunaku luli nti, ‘kino nkikola olw'ebyo mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.’
9
Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo mu kyenyi kyo, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko; kubanga n'omukono ogw'amaanyi Mukama yakuggya mu Misiri.
10
Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka.
11
“Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa,
12
onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama.
13
Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onooginyoolanga ensingo; era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga.
14
Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti, ‘Kiki kino?’ Onoomugambanga nti, ‘Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.
15
Awo olwatuuka, olw'empaka za Falaawo, bwe yagaanira ddala okutuleka, Mukama kwe kutta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo; Mukama kyenva mmuwa buli kiggulanda ekisajja okuba ssaddaaka, naye ababereberye b'abaana baffe bonna tubanunula.’
16
N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, oba mu kyenyi kyo; kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggyira mu Misiri.”
17
Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti, “Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri.”
18
Naye Katonda neyeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu; abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina eby'okulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
19
Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye; kubanga yabalayiriza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti, “Katonda talirema kubalabikira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.”
20
Ne bava mu Sukkosi nga batambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu.
21
Mukama n'abakulembera emisana mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, era n'ekiro mu mpagi ey'omuliro okubaakira; balyoke batambule emisana n'ekiro;
22
empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaavanga mu maaso g'abantu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40