bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 6
Exodus 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 7 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Kaakano onoolaba bye n'akola Falaawo; nja kukozesa obuyinza bwange muwalirize abaleke, ajja kubagoba bugobi mu nsi ye.”
2
Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti, “NZE YAKUWA.
3
N'alabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye ssaabamanyisa linnya lyange erya YAKUWA.
4
Ne nyweza nate endagaano yange nabo, ey'okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng'abagwira.
5
Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange.
6
Kale nno tegeeza abaana ba Isiraeri nti, ‘Nze Yakuwa ndibanunula era ndibaggyako okubonyaabonyezebwa n'obuddu bw'Abamisiri, era Abamisiri ndibabonereza n'obuyinza bwange, naye mmwe ne mbanunula.
7
Ndibafuula eggwanga lyange, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe abanunudde okuva mu kubonyaabonyezebwa kw'Abamisiri.
8
Ndibayingiza mu nsi eri, gye nneerayirira okuwa, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa mmwe okubeera obutaka. Nze Yakuwa.’ ”
9
Naye Musa ne batamukkiriza kubanga mu mitima gyabwe baali baterebuse olw'okubonyabonyezebwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.
10
Mukama n'agamba Musa nti,
11
“Genda ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.”
12
Musa n'agamba Mukama nti, “ Oba nga abaana ba Isiraeri tebampulidde; Kale Falaawo anaampulira atya nze atali mwogezi mulungi?”
13
Mukama n'alagira Musa ne Alooni nti, “Mugambe abaana ba Isiraeri ne Falaawo kabaka w'e Misiri, nti ndagidde mmwe okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri.”
14
Bano be bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe: abaana ba Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri be bano: Kanoki, Palu, Kezulooni, ne Kalumi; mu abo mwe muva ekika kya Lewubeeni.
15
Abaana ba Simyoni be bano: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani; mu abo mwe muva ekika kya Simyoni.
16
Gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe: Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137).
17
Abaana ba Gerusoni be bano: Libuni ne Simeeyi ng'ennyumba yabwe bw'eri.
18
N'abaana ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu (133).
19
Abaana ba Merali be bano: Makuli ne Musi. Abo bonna be bo mu kika kya Leevi mu mirembe gyabwe.
20
Amulaamu yawasa Yokebedi ssenga we; n'amuzaalira Alooni ne Musa. Amulaamu n'awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137).
21
Bano be baana ba Izukali: Koola, Nefega, ne Zikiri.
22
Bano be baana ba Wuziyeeri: Misaeri, Erizafani, ne Sisiri.
23
Alooni yawasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
24
Abaana ba Koola be bano: Asira, Erukaana, ne Abiyasaafu; eyo ye nnyumba ya Koola.
25
Eriyazaali, omwana wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo be bakulu b'ennyumba ab'omu kika kya Leevi.
26
Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri.”
27
Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri aleke abaana ba Isiraeri bave mu Misiri.
28
Ku lunaku Mukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri,
29
n'agamba Musa nti, “Nze Mukama; tegeeza Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.”
30
Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, nze siri mwogezi mulungi, Falaawo anaampulira atya?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40