bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 16
Exodus 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 17 →
1
Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri.
2
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu;
3
abaana ba Isiraeri ne babagamba nti, “Waakiri olw'omukono gwa Mukama twandifiiridde mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatuleeta mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.”
4
Mukama n'alyoka agamba Musa nti, “Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.
5
Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
6
Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti, “Olweggulo lwe munaamanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri;
7
era enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde bwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani, n'okwemulugunya ne mwemulugunyiza ffe?”
8
Musa n'ayogera nti, “Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza; naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
9
Musa n'agamba Alooni nti, “Gamba ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti, ‘Musembere mu maaso ga Mukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
10
Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika mu kire.
11
Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti,
12
“Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri; bagambe, ng'oyogera nti, ‘Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
13
Awo olweggulo entiitiri ne ziggwa ne zisaanikira olusiisira. Ku makya, olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira.
14
Olufu olwagwa bwe lwaggwako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akagonvu ng'omusulo naye nga kakwafu.
15
Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino?” Kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti, “Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.”
16
Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti, “Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye.”
17
Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono.
18
Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya.
19
Musa n'abagamba nti, “Omuntu talekaawo okutuusa enkya.”
20
Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu.
21
Ne bakuŋŋaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya; era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa.
22
Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri; abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa.
23
N'abagamba nti, “Ekyo Mukama kye yayogera nti, ‘Enkya kye kiwummulo ekikulu, Ssabbiiti entukuvu eri Mukama; mwokye bye mwagala okwokya, mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.’ ”
24
Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira; n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu.
25
Musa n'ayogera nti, “Mulye eno leero; kubanga leero ye Ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale.
26
Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti, okwo teribeerawo.”
27
Awo ku lunaku olw'omusanvu, abamu ku bantu ne bagenda okukuŋŋaanya, ne batagiraba.
28
Mukama n'amugamba Musa nti, “Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange?
29
Mulabe, kubanga Mukama abawadde Ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey'ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.”
30
Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu.
31
Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Maanu; ng'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.
32
Musa n'ayogera nti, “Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti, ‘Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri.’ ”
33
Musa n'amugamba Alooni nti, “Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde maanu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.”
34
Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo.
35
Abaana ba Isiraeri ne baliira maanu emyaka ana (40), okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya maanu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani.
36
Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40