bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 19
Exodus 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 20 →
1
Ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokusatu, nga abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi
2
Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi.
3
Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri
4
nti, ‘Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnabasitulira mmwe ku biwaawaatiro by'empungu, era bwe nnabaleeta gye ndi.
5
Kale, kaakano, bwe munaawuliranga ddala eddoboozi, lyange ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo mmwe munaabanga ekintu kyange ekiganzi mu mawanga gonna; kubanga ensi yonna yange,
6
nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu.’ Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.”
7
Musa n'ajja n'ayita abakadde b'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira.
8
Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti, “Byonna Mukama bye yayogera tulibikola.” Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.
9
Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, njija gy'oli mu kire ekikutte, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna.” Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.
10
Mukama n'agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero ne enkya, era bayoze engoye zaabwe,
11
beeteketeeke okutuusa olunaku olwokusatu; kubanga ku lunaku olwokusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi.
12
Naawe abantu olibateekera ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti, ‘Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo; buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa.
13
Ensolo yonna oba omuntu yenna alikoma ku lusozi, alittibwa ng'akubibwa amayinja oba okulasibwa n'akasaale; omuntu yenna aleme okumukomako.’ Eŋŋombe bw'erivuga ennyo olwo abantu ne balyoka basemberera olusozi.”
14
Musa n'akka ng'ava ku lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe.
15
N'agamba abantu nti, “Mweteekereteekere olunaku olwokusatu; temusemberera mukazi.”
16
Awo ku lunaku olwokusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekikutte ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.
17
Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi.
18
Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro; omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
19
Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi.
20
Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi, Musa n'alinnya.
21
Mukama n'agamba Musa nti, “Serengeta, olagire abantu baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okuzikirira.
22
Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okubabonereza.”
23
Musa n'agamba Mukama nti, “Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi; kubanga watulagira, ng'oyogera nti, ‘Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.’ ”
24
Mukama n'amugamba nti, “Genda, oserengete; naawe olirinnya wamu ne Alooni; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okubabonereza.”
25
Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40