bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 25
Exodus 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 26 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Tegeeza abaana ba Isiraeri bakuleetere ebiweebwayo byange, nga buli muntu bw'anaakubirizibwa mu mutima gwe.
3
Bino bye biweebwayo bye balibaleetera: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo;
4
n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
5
n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
6
amafuta g'ettaala, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
7
amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.
8
Era bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.
9
Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.”
10
“Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
11
Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola.
12
Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka ku magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olwokubiri.
13
Era olikola emisituliro egy'omuti ogwa sita, oligibikkako zaabu.
14
Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esitulibwenga n'egyo.
15
Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko; tegiggibwangamu.
16
Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.
17
Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi; emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.
18
Era olikola bakerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira.
19
Era kola kerubi omu ku nsonda emu, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda endala; bakerubi n'entebe ey'okusaasira birikolwa okuva mu zaabu emu.
20
Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuliganye amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.
21
Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku ssanduuko; era mu ssanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa.
22
Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakulagiranga eri abaana ba Isiraeri.
23
“Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita; emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
24
Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.
25
Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
26
Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
27
Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza.
28
Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo.
29
Era olikola essowaani zaayo, n'ebbakuli zaayo, eby'okuteekamu eby'akaloosa; n'ensuwa zaayo, nensumbi zaayo eby'okuttuluza. Olibikola mu zaabu ennungi.
30
Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.
31
“Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi; ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo.
32
Kiriba n'amatabi mukaaga ku njuyi zaakyo: amatabi asatu ku buli ludda.
33
Buli limu ku matabi omukaaga liribeerako ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, omutwe n'ekimuli;
34
ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo;
35
n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.
36
Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo; kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.
37
Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu; era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo.
38
Ne nnamagalo waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi.
39
Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.
40
Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40