bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 7
Exodus 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 8 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda eri Falaawo; era Alooni muganda wo alibeera nnabbi wo.
2
Olyogera buli kye nkulagira; ne Alooni muganda wo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.
3
Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongera obubonero n'okukola eby'amagero mu nsi y'e Misiri.
4
Naye Falaawo talibawuliriza, nange ndikozesa amaanyi, ne nzigya abantu bange, abaana ba Isiraeri mu Misiri, nga maze okugibonereza ennyo.
5
Kale Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndikozesa obuyinza bwange okubonereza Misiri ne nzigyayo abaana ba Isiraeri.”
6
Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yabalagira.
7
Musa yali awezezza emyaka kinaana (80), ne Alooni ng'awezezza kinaana mu esatu (83), we baayogerera ne Falaawo.
8
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
9
“Falaawo bw'alibagamba nti, ‘Mukoleewo eky'amagero;’ awo n'olyoka ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gufuuke omusota.’ ”
10
Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Alooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be, ne gufuuka omusota.
11
Falaawo naye n'alyoka ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri; era nabo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama.
12
Ne basuula emiggo gyabwe wansi ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.
13
Omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
14
Mukama n'agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo mukakanyavu, kubanga agaanyi okuleka abantu okugenda.
15
Kale enkya, genda eri Falaawo omusisinkane ng'agenda ku mugga, omulindirire ku mabbali g'omugga ng'okutte omuggo guli ogwafuuka omusota.
16
Omugambe nti, ‘Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, antumye gy'oli ng'ayogera nti, Leka abantu bange, bagende mu ddungu bampeerereze;’ naye n'okutuusa kaakano ogaanyi okuwulira.”
17
Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, “Ku kino kw'olimanyira nga nze Mukama: ndikuba amazzi agali mu mugga n'omuggo oguli mu mukono gwange, nago galifuuka omusaayi.
18
Eby'omu nnyanja birifa, n'omugga guliwunya; n'Abamisiri tebaliyinza kunywa ku mazzi gaagwo.”
19
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogugololere ku mazzi g'e Misiri: ku migga gyabwe, ku myala gyabwe, ku bidiba byabwe ne ku nnyanja zaabwe zonna ez'amazzi, gafuuke omusaayi.’ Omusaayi gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri, mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.”
20
Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n'ayimusa omuggo, n'akuba amazzi agaali mu mugga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.
21
Eby'omu mugga ne bifa; omugga ne guwunya, Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi ga mugga Kiyira; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri.
22
N'abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag'ekyama; Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.
23
Falaawo n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye, ebyo n'atabissaako mwoyo.
24
Abamisiri bonna ne basima okumpi n'omugga bafune amazzi ag'okunywa, kubanga amazzi ag'omugga Kiyira nga tebayinza kuganywako.
25
Ne wayitawo ennaku musanvu, Mukama ng'amaze okukuba omugga.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40