bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 9
Exodus 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 10 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange bampeereze.’
2
Naye bw'onoogaana okubaleka okugenda,
3
laba, omukono gwa Mukama gulireeta nsotoka omuzibu ennyo ku magana go agali ku ttale: ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga.
4
Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri ku g'Abamisiri; so ku g'Abaisiraeri tekulifa n'emu.”
5
Mukama n'assaawo ekiseera ng'ayogera nti, “Enkya lwenaakola ekyo mu nsi.”
6
Mukama n'akola ekyo bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa; naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tekwafa n'emu.
7
Falaawo n'atuma okubuuza ekibaddewo ku magana g'Abaisiraeri, ne bamutegeeza nti tekuli n'emu efudde.
8
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “ Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimanse waggulu nga Falaawo alaba.
9
Lirifuumuuka ng'enfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, ne lireeta amayute ku bantu ne ku nsolo mu nsi yonna ey'e Misiri; era amayute ago galyabika ne gafuuka amabwa.”
10
Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agayaabika, ne gafuuka amabwa.
11
Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa kubanga nabo baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna.
12
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa.
13
Mukama n'agamba Musa nti, “Ogolokoka enkya ku makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange, bagende bampeereze.’
14
Kubanga ku mulundi guno nja ku kubonereza nnyo ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo; olyoke omanye nga mu nsi yonna tewali afaanana nga nze.
15
Kubanga kaakano nandikuleseeko kawumpuli ggwe, n'abantu bo ne muzikiririra ddala;
16
naye kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke ligulumizibwe mu nsi zonna.
17
N'okutuusa kaakano okyagugubye, n'ogaana abantu bange okugenda?
18
Laba, enkya nga mu kiseera kino n'atonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebaawo okutuusa kaakano.
19
Kale kaakano lagira abaddu bo baggye mangu amagana go ku ttale; kubanga buli muntu, n'ensolo ebinaasigala ku ttale, ne bitayingizibwa mu nnyumba, omuzira gujja kubikuba gubitte.”
20
Naye mu baddu ba Falaawo, buli eyatya ekigambo kya Mukama yaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba.
21
Naye ataakitya yaleka abaddu be n'amagana ge ku ttale.
22
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ku nsuku ne ku bimera byonna eby'omu nnimiro.”
23
Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu; Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi yonna ey'e Misiri.
24
Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga.
25
Omuzira ne gugwa ku nsi yonna ey'e Misiri ne gukuba buli ekyali ku ttale: omuntu, ensolo; omuddo, ne gumenya n'emiti.
26
Mu nsi ey'e Goseni yokka, abaana ba Isiraeri mwe baali, mwe mutaali muzira.
27
Falaawo n'atumya, Musa ne Alooni, n'abagamba nti, “Nnyonoonye omulundi guno; Mukama ye mutuukirivu, nze n'abantu bange tuli babi.
28
Kale musabe Mukama akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira; kubanga ebyo bimmaze; nange nnaabaleka mugende mangu.”
29
Musa n'addamu nti, “Bwe nnaava mu kibuga, naayanjululiza Mukama ebibatu byange, okubwatuka ne kuggwaawo n'omuzira ne gulekeraawo; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.
30
Naye mmanyi nga ggwe n'abaddu bo temunnaba kutya Mukama Katonda.”
31
(Obugoogwa ne sayiri byakubibwa omuzira, kubanga sayiri yali atandiikiriza okubala nga n'obugoogwa busansudde.
32
Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa; kubanga byali nga tebinnamera).
33
Musa bwe yava mu kibuga awali Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye; okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, n'enkuba n'eteyongera kutonnya ku nsi.
34
Falaawo bwe yalaba ng'enkuba, n'omuzira, n'okubwatuka biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be.
35
Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'ataleka baana ba Isiraeri kugenda, nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40