bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 32
Exodus 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 33 →
1
Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti, “Golokoka, otukolere katonda anaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.”
2
Alooni n'abagamba nti, “ Muggyeeko empeta eza zaabu eziri ku matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.”
3
Abantu bonna ne baggyako empeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni.
4
N'azitoola mu ngalo zaabwe, n'aziwumba n'ekyuma ekisala, n'azisanuusa, n'azikolamu ennyana; ne boogera nti, “Ono ye katonda wo, ggwe Isiraeri, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.”
5
Alooni bwe yalaba bw'atyo, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti, “Enkya wanaabeera embaga ya Mukama.”
6
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka ne bakola ebitasaana.
7
Mukama n'agamba Musa nti, “Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza;
8
bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
9
Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye nga ba nsingo nkakanyavu;
10
kale kaakano ndeka, obusungu bwange bubuubuukire ku bo, era mbazikirize; era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.”
11
Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti, “Mukama kiki ekibuubuusizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi, n'omukono ogw'obuyinza?
12
Lwaki owa Abamisiri omwaganya okwogera nti, Yabajja mu Misiri ng'agenderedde okubattira ku nsozi abasaanyizeewo ddala? Leka obusungu bwo obukambwe, okyuse oleme okubonereza abantu bo.
13
Jjukira Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayirira wekka n'obagamba nti, ‘Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.’ ”
14
Mukama n'akyusa naatabonereza bantu be.
15
Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi.
16
N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande.
17
Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu n'agamba Musa nti, “Mpulira abantu mu lusiisira nga baleekaana ng'abalwana.”
18
N'ayogera nti, “Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa; naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.”
19
Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina; obusungu bwa Musa ne bubuubuuka nnyo, n'akasuka ebipande ebyalimu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi.
20
N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri.
21
Musa n'agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene?”
22
Alooni n'ayogera nti, “Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo; gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi.
23
Kubanga baŋŋamba nti, ‘Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.’
24
Ne mbagamba nti, ‘Buli alina zaabu yonna yonna, agyeggyeko;’ awo ne bagimpa, ne ngiteeka mu muliro, ne muvaamu ennyana eno.”
25
Musa nnalaba abantu nga bajagaladde; kubanga Alooni yabaleka okujagalala, kye kyabatuusa ku kusekererwa abalabe baabwe;
26
Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti, “Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi.” Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali.
27
N'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Buli muntu akwate ekitala kye, ayiteeyite mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, atte mugandawe, muntu munne, ne muliraanwa we.’ ”
28
Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ku lunaku olwo abantu ne bafa ng'enkumi ssatu (3,000).
29
Musa n'ayogera nti, “Mwetukuzza eri Mukama, kuba buli omu ku mmwe akkirizza okutta omwana we ne mugandawe, Mukama alyoke akuwe omukisa leero.”
30
Awo bwe bwakya enkya, Musa n'agamba abantu nti, “Mwayonoonye ekyonoono ekinene; ne kaakano nnaalinnya eri Mukama; mpozzi n'akola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.”
31
Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti, “Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera katonda owa zaabu.
32
Naye kaakano, sonyiwa ekyonoono kyabwe, naye bw'otoobasonyiwe nkwegayiridde sangula nze mu kitabo kyo kye wawandiika.”
33
Mukama n'agamba Musa nti, “Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange.
34
Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako; laba, malayika wange anaakukulemberanga; era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.”
35
Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga bawaliriza Alooni okukola ennyana eya zaabu.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40