bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 34
Exodus 34
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 35 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya.
2
Era enkya weeteeketeeke olinnye ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko yaalwo.
3
So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.”
4
N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya ku makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja.
5
Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'ayatula erinnya lye, MUKAMA.
6
Mukama n'ayita mu maaso ge, n'ayatula nti, “Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;
7
ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi, era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.”
8
Musa n'ayanguwa, n'akutamya omutwe, n'asinza.
9
N'ayogera nti, “Bwe mba kaakano nga N'alaba ekisa mu maaso go, ayi Mukama, Mukama atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.”
10
N'ayogera nti, “Laba, ndagaana endagaano; mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna; n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukozesa kya ntiisa.
11
Lowooza kino kye nkulagira leero. Laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi.
12
Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe;
13
naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe;
14
kubanga toosinzenga katonda mulala yenna, kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya;
15
tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne bawa bakatonda baabwe ssaddaaka, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;
16
Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza bakatonda baabwe.”
17
“Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse.
18
Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu; kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri.
19
Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga.
20
N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga; era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga ensingo yaayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.
21
“Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga; mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.
22
Era mukuumanga embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga embaga ey'ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula.
23
Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri.
24
Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo; so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.
25
“Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukusiddwa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya.
26
Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.”
27
Mukama n'agamba Musa nti, “Ggwe wandiika ebigambo ebyo; kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.”
28
N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku ana (40) emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi (10).
29
Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo ze; Musa n'atamanya ng'obwenyi bwe bumasamasa olw'okwogera ne Katonda.
30
Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, obwenyi bwe nga bumasamasa; ne batya okumusemberera.
31
Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali; Musa n'ayogera nabo.
32
Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera; n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.
33
Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge.
34
Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri nga bwe yalagirwanga;
35
abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, obwenyi bwe nga bumasamasa; Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40