bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 12
Exodus 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 13 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti,
2
“Omwezi guno gulibabeerera ogwolubereberye mu myezi; gulibabeerera omwezi ogwolubereberye ogw'omwaka.
3
Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri nti, Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, balyetwalira mu buli nnyumba omwana gw'endiga gumu, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe ziri.
4
Ennyumba bw'eneebeerangamu abantu abatono nga teemaleewo mwana gw'endiga omulamba, kale beegatte ku nnyumba ya mulirwaana waabwe, babalirwe ku muwendo gw'abantu abali mu nnyumba eyo, baliire wamu omwana gw'endiga.
5
Omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, guliba musajja oguwezezza omwaka, nga teguliiko bulema,
6
muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno; olwo eya buli nnyumba eryoke ettibwe olw'eggulo ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kikuŋŋaanye.
7
Era balitwala ku musaayi, bagusiige ku myango gy'enzigi ne waggulu, mu nnyumba mwe baliguliira.”
8
“Awo balirya ennyama mu kiro ekyo, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezikaawa.
9
Temugiryangako nga mbisi newakubadde enfumbe n'amazzi, wabula enjokye n'omuliro; n'omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo.
10
Temugirekangawo okutuusa enkya; naye bwe walibaawo esigaddewo muligyokya n'omuliro.
11
Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde engatto, nga mukutte n'emiggo mu mikono gyammwe, mugiryanga mangu; kubanga okwo kwe kuliba okuyitako kwa Mukama.
12
Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro ekyo, nditta ebibereberye byonna mu nsi ey'e Misiri, abantu era n'ensolo; era ndisalira bakatonda bonna ab'e Misiri emisango, Nze Mukama.
13
Omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu; nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe mu mmwe olulibazikiriza bwe ndiyita mu nsi ey'e Misiri.
14
Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, nammwe munaalukuumanga ng'embaga ya Mukama ey'etteeka eritaggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.”
15
“Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olwolubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga buli alya emigaati egizimbulukusiddwa okuva ku lunaku olwolubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, anaaboolebwanga mu Isiraeri.
16
Ku lunaku olwolubereberye ne ku lunaku olw'omusanvu mulibeera n'okukuŋŋaana okutukuvu. Temukolanga mirimu gyonna mu nnaku ezo, wabula egyo gyokka egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.”
17
“Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa; kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe nnaggyira ekibiina kya Isiraeri kyonna okuva mu nsi ey'e Misiri; kye munaavanga mwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna ng'etteeka eritaggwaawo.
18
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, mu mwezi ogwolubereberye olweggulo, mulirya emigaati egitazibulukusiddwa okutuusiza ddala ku lunaku olw'abiri mu olumu olweggulo.
19
Mu nnaku ezo omusanvu ekizimbulukusa tekibeeranga mu nnyumba zammwe; kubanga buli muntu alirya ekizimbulukusiddwa, oba nzaalwa oba munnaggwanga, aliboolebwa mu kibiina kya Isiraeri.
20
Temulyanga ekizimbulukusiddwa kyonna mu nnyumba zammwe zonna; wabula emigaati egitazimbulukusiddwa.”
21
Musa n'alyoka ayita abakulembeze bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti, “Buli muntu alonde omwana gw'endiga oba ogw'embuzi, ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mugutte olw'okukwata okuyitako.
22
Nammwe mulitwala akasaaganda ka ezobu ne mukannyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mugusiiga ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu; omuntu yenna tafulumanga mu nnyumba ye okutuusa enkya.
23
Kubanga Mukama aliyita okutta Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku mwango, mu mbiriizi ne waggulu, Mukama aliyita ku nnyumba eyo so talikkiriza muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubatta.
24
Mulyekuuma etteeka lino, n'abaana bammwe abaliddawo ennaku zonna.
25
Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, munaakwatanga embaga eno.
26
Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘embaga eno etegeeza ki?’
27
Mulibaddamu nti, ‘Eno ye ssaddaaka etujjukiza okuyitako kwa Mukama, bwe yayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'atta Abamisiri, ffe n'atuwonya. Abantu ne bavunama ne basinza.’ ”
28
Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni.
29
Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'atta abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo ow'okutuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo.
30
Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu.
31
Falaawo n'ayita Musa ne Alooni ekiro ekyo, n'abagamba nti, “Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera.
32
Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; nange munsabire omukisa.”
33
Abamisiri ne bakubiriza Abaisiraeri banguwe okuva mu nsi; kubanga baayogera nti, “Ffenna tujja kufa, singa temugenda.”
34
Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe.
35
Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Musa bwe yabalagira; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye;
36
Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa byonna bye baabasaba. Ne banyaga Abamisiri.
37
Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Lameseesi okutuuka e Sukkosi. Baali abasajja obusiriivu mukaaga (600,000), abaatambula n'ebigere nga tobaze bakazi na baana.
38
Era n'ekibiina kinene ekya bannamawanga ne kigenda nabo, n'endiga, n'ente, n'ebisibo bingi nnyo.
39
Ne bafumba emigaati egitaliimu kizimbulukusa n'obutta bwe baggya e Misiri, kubanga tebaalina budde kussaamu kizimbulukusa, kubanga bagobebwa mangu okuva mu Misiri, era baali tebannaba kwefumbira mmere yonna.
40
N'emyaka abaana ba Isiraeri gye baamala mu Misiri gyali bina mu asatu (430).
41
Awo olwatuuka emyaka ebina mu asatu (430) bwe gyaggwako, ku lunaku olwo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne kiryoka kiva e Misiri.
42
Ekiro ekyo Mukama kye yaggyiramu abaana ba Isiraeri mu Misiri, munaakikwatanga mu mirembe gyammwe gyonna.
43
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna tagiryangako;
44
naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okukomolebwa, n'alyoka agiryako.
45
Munnaggwanga n'omuweereza aweebwa empeera tebagiryangako
46
Eneeriirwanga mu nnyumba mw'ettiddwa. Temufulumyanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo, era temumenyanga ggumba lyayo.
47
Ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaakwatanga embaga ey'okuyitako.
48
Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okukwata embaga ey'okuyitako, bw'anaabanga omusajja anaamalanga kukomolebwa alyoke akwate embaga eyo; olwo anaabanga ng'enzaalwa; naye atali mukomole yenna tagiryangako.
49
Linaabanga etteeka limu eri enzaalwa n'omugenyi asula omumwe.”
50
Bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni.
51
Awo ku lunaku olwo Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri ng'ebika byabwe bwe byali.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40