bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 4
Exodus 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 5 →
1
Musa n'addamu nti, “Tebalinzikiriza era tebaliwulira bigambo byange; kubanga baligamba nti, ‘Mukama teyakulabikira.’ ”
2
Mukama n'amugamba nti, “Kiki ekiri mu mukono gwo?” N'addamu nti, “Muggo.”
3
N'amugamba nti, “Gusuule wansi.” N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota; Musa n'agudduka.
4
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo;” n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo nate.
5
Olikola ekyo balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.
6
Mukama n'amugamba nate nti, “Teeka omukono gwo mu kifuba kyo.” N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga guliko ebigenge ebyeru ng'omuzira
7
Mukama n'amugamba nate nti, “Omukono gwo guzze mu kifuba kyo.” N'aguzza mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba ng'ebigenge biweddeko ng'afuuse ng'omubiri gwonna.
8
Awo olulituuka bwe batalikukkiriza kukuwulira ku kabonero ak'olubereberye, kale balikukkiriza ku kabonero ak'okubiri.
9
Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira by'obagamba, kale olisena ku mazzi g'omugga Kiyira n'ogayiwa ku lukalu; amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu.
10
Musa n'agamba Mukama nti, “Ayi Mukama siri mwogezi mulungi okuva ddi na ddi, wadde okuva lwe watandise okwogera nange; kubanga soogera mangu, era n'ebigambo byange si bingi.”
11
Mukama n'amubuuza nti, “Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba kiggala oba alaba, oba muzibe? Si nze Mukama?
12
Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu naawe, ndikusobozesa okwogera era ndikutegeeza by'olyogera.”
13
Musa n'addamu nti, “Ayi Mukama, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.”
14
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti, “Alooni muganda wo, Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga ayinza okwogera obulungi. Era, laba, wuuyo ajja okukusisinkana; bw'anaakulaba ajja kusanyuka.
15
Kale ggwe onooyogeranga naye, n'omutegeeza by'anaayogeranga. Nange nnaabasobozesaga mmwembi okwogera, era nnaabategeezanga bye munaakolanga.
16
Alooni ye anaabeeranga omwogezi wo, anaakwogereranga eri abantu. Naawe olimubeerera nga Katonda, ng'omutegeeza by'anaayogeranga.
17
Twala omuggo guno, gw'olikozesaza eby'amagero.”
18
Awo Musa n'addayo eri Yesero kitaawe wa mukazi we. N'amugamba nti, “nkwegayiridde, kanzireyo e Misiri eri baganda bange, ndabe nga bakyali balamu.” Yesero n'agamba Musa nti, “Genda mirembe.”
19
Musa bwe yali ng'akyali mu Midiyaani, Mukama n'agamba nti, “ddayo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta baafa dda.”
20
Musa n'atwala omuggo gwa Katonda, ne mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'e baddayo e Misiri
21
Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otuukanga e Misiri okolanga eby'amagero byonna bye nkulaze mu maaso ga Falaawo. Nange ndikakanyaza omutima gwe n'attakkiriza bantu kugenda.
22
Naawe oligamba Falaawo nti, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Isiraeri ye mwana wange, omubereberye;
23
nkugambye nti leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka; laba, nange nditta omwana wo omubereberye wo.’ ”
24
Awo bwe baali bakyali mu lugendo nga bali mu kifo we baasula, Mukama n'asisinkana Musa n'ayagala okumutta.
25
Awo Zipola, mukazi wa Musa n'addira ejjinja ery'obwogi n'akomola omwana we, ekikuta n'akiyisa ku bigere bya Musa, n'agamba nti, “oli baze wa musaayi!”
26
Mukama n'amuleka. Awo Zipola n'ayogera nate nti, “Oli baze wa musaayi olw'okukomola.”
27
Mukama n'agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu osisinkane Musa.” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera.
28
Musa n'abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yamutuma, n'eby'amagero byonna bye yamulagira okukola.
29
Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri.
30
Alooni n'abategeeza ebigambo byonna Mukama bye yagamba ne Musa, n'akola eby'amagero mu maaso g'abantu.
31
Abantu ne bakkiriza; bwe baawulira nti Mukama yalabikira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40