bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 3
Exodus 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 4 →
1
Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w'e Midiyaani; n'atwala ekisibo n'akiyisa mu ddungu, n'atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu.
2
Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka. Musa n'alaba ekisaka ekyo nga kyaka omuliro, naye nga tekisiriira.
3
Musa n'ayogera nti, “Kansembere nnetegereze ekintu kino ekikulu, ndabe ekigaana ekisaka kino okusiriira.”
4
Mukama bwe yalaba ng'asembera okwetegereza, n'amuyita ng'ayima wakati mu kisaka nti, “Musa, Musa!” Musa n'ayitaba nti, “Nze nzuuno!”
5
N'ayogera nti, “Tosembera wano; ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.”
6
N'ayogera nate nti, “Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka mu maaso, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
7
Mukama n'ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe olw'abo ababakozesa; ntegeeredde ddala okubonaabona kwabwe;
8
era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi, era engazi, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; erimu kati Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi n'Abayebusi.
9
Kale, kaakano, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi; era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu.
10
Kale nno jjangu, nkutume eri Falaawo mu Misiri, oggyeyo abaana ba Isiraeri, abantu bange.”
11
Musa n'agamba Katonda nti, “Nze ani agenda e Misiri eri Falaawo, okuggyayo abaana ba Isiraeri?”
12
Katonda n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe; era kano ke kabonero akalikukakasa nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulinsinziza ku lusozi luno.”
13
Musa n'agamba Katonda nti, “Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe yantumye eri mmwe;’ nabo balimbuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
14
Katonda n'agamba Musa nti, “NINGA BWE NDI,” n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti, ‘NDI ye antumye eri mmwe.’ ”
15
Katonda nate n'agamba Musa nti, Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe, eryo lye linnya lyange emirembe n'emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga emirembe gyonna.
16
Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri bonna, obagambe nti, Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira n'aŋŋamba nti, ‘Nzize gye muli, era ndabye okubonaabona kwammwe mu Misiri.’
17
Mmaliridde okubaggya mu kubonaabona okw'e Misiri mbayingize mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.”
18
“Balikkiriza by'olibagamba era ggwe n'abakadde ba Isiraeri ne mulyoka mugenda eri Kabaka w'e Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya yatulabikira; kale nno, tukkirize tukwegayiridde, tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’
19
Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibakkiriza kugenda, okuggyako ng'awalirizibbwa n'omukono ogw'amaanyi.
20
Nange ndikozesa obuyinza bwange ne nkola eby'amagero mu Misiri okugibonereza; ebyo bwe biriggwa, alibaleka okugenda.
21
Abaisiraeri ndibawa okwagalibwa Abamisiri, era temulivaayo ngalo nsa.
22
Buli mukazi Omuisiraeri aligenda eri mulirwaana we Omumisiri n'eri buli mukazi Omumisiri, gw'abeera naye mu nnyumba, n'abasaba engoye n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu. Mulibitikka batabani bammwe ne bawala bammwe; bwe mutyo bwe mulitwala obugagga bw'Abamisiri.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40