bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 5
Exodus 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 6 →
1
Awo oluvannyuma Musa ne Alooni ne bajja ne bagamba Falaawo nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.’ ”
2
Falaawo n'abuuza nti, “Mukama ye ani, nze okuwulira by'agamba okuleka Isiraeri okugenda? Nze Mukama simumanyi, era ne Isiraeri sijja kumuleka kugenda.”
3
Musa ne Alooni ne bagamba nti, “Katonda wa Baebbulaniya ye yatulabikira; tukwegayiridde tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe aleme okututta ne kawumpuli oba n'ekitala.”
4
Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lwaki muggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeyo ku mirimu gyammwe.”
5
Falaawo n'ayogera nti, “Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubaggya ku mirimu gyabwe.”
6
Ku lunaku olwo Falaawo n'alagira abakozesa abantu n'abakulu baabwe, ng'ayogera nti,
7
“Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okukozesa amatoffaali nga bulijjo; bo bennyini bagende balyekuŋŋaanyize.
8
N'omuwendo gw'amatoffaali, ge babumba bulijjo, gusigale nga bwe guli, temugukendeezaako n'akatono; kubanga bagayaavu; kyebaava basaba nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’
9
Abantu baweebwe emirimu emikakali bagikole; baleme okuwuliriza ebigambo eby'obulimba.”
10
Abakozesa abantu ne bavaayo n'abakulu baabwe, ne bagamba abantu nti, “Falaawo alagidde nti, ‘Temukyaweebwanga ssubi nate.
11
Mmwe bennyini mugende mweretere essubi gye munaalisanga yonna, naye omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba tegujja kusalibwako n'akatono.’ ”
12
Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okunoonya essubi
13
Abakoza baabwe ne babakubiriza nti, “Mutuukirize omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba ogwa buli lunaku nga bwe mwakolanga nga mukyaweebwa essubi.”
14
Abakozesa ba Falaawo ne bakuba abakulu b'abaana ba Isiraeri, nga bababuuza nti, “Lwaki jjo ne leero temwatuukirizza muwendo ogw'amatoffaali nga bulijjo.”
15
Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne bajja ne bakaabira Falaawo, ne bagamba nti, “Lwaki otuyisa bw'otyo ffe abaddu bo?
16
Tetukyaweebwa ssubi, ate batugamba okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bulijjo, ate tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.”
17
Falaawo n'abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu, kye muva mwogera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’
18
Kale kaakati mugende mubumbe amatoffaali, era temujja kuweebwa ssubi; kyokka muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.”
19
Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne balaba ng'obuzibu bweyongedde, bwe baabagamba nti, “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.”
20
Bwe baava ewa Falaawo ne basisinkana Musa ne Alooni nga babalindiridde.
21
Ne bagamba Musa ne Alooni nti, “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.”
22
Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze?
23
Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bo; so naawe tobawonyezza n'akatono!”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40