bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 15
Exodus 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 16 →
1
Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bayimbira Mukama oluyimba luno nti, “Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.
2
Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange; Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza.
3
Mukama ye muzira okulwana; Mukama lye linnya lye,
4
Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja; N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.
5
Obuziba bubasaanikidde; Basse mu buziba ng'ejjinja.
6
Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gwa kitiibwa, gwa maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe.
7
Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba; Obusungu bwo bubuubuuka, ne bubookya ng'ebisasiro.
8
N'omukka ogw'omu nnyindo zo, amazzi gatumbiira. Gayimirira ne gakola ebisenge; Obuziba bw'ennyanja ne bwekwata ng'ekitole.
9
Omulabe n'ayogera nti, ‘Naagoberera, n'atuuka, n'atwala omunyago Byenegomba byonna nja kubiggya kubo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.’
10
Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira; Baasaanawo ng'ekyuma mu mazzi ag'amaanyi.
11
Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola eby'amagero?
12
Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira.
13
Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula, N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.
14
Amawanga gaawulira, ne gakankana; Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti.
15
Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana ne kubakwata; Abatuula mu Kanani bonna bayenjebuka.
16
Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be wanunula.
17
Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza.
18
Mukama alifuga emirembe n'emirembe.”
19
Embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge, n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja.
20
Miryamu, nnabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.
21
Miryamu n'ayimba nti, “Muyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.”
22
Musa n'akulembera Isiraeri okuva ku nnyanja emmyufu, ne batuuka mu ddungu ly'e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, ne batalaba mazzi.
23
Bwe baatuuka e Maala, ne batayinza kunywa ku mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa; Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Maala.
24
Abantu ne beemulugunyiza Musa, nga boogera nti, “Tunaanywa ki?”
25
Musa n'akaabirira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabaweera etteeka n'ebiragiro, n'abagereza eyo.
26
N'ayogera nti, “Bw'oliwulirira ddala eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri; kubanga nze Mukama akuwonya.”
27
Ne batuuka mu Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu; ne basula awo awali amazzi.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40