bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 2
Exodus 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 3 →
1
Awo omusajja ow'omu kika kya Leevi n'agenda n'awasa omukazi ow'omukika kya Leevi.
2
Omukazi n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu.
3
Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo n'akisiiga ettosi n'envumbo; omwana n'amuteeka munda, n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga.
4
Mwannyina w'omwana n'ayimirira walako alabe, ekinaamutuukako.
5
Awo muwala wa Falaawo n'aserengeta ku mugga okunaaba; abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga; ye n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta.
6
Muwala wa Falaawo n'akisumulula, n'alaba omwana; omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'agamba nti, “Ono ye omu ku baana b'Abaebbulaniya.”
7
Awo mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana oyo?”
8
Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'amuyitira nnyina w'omwana.
9
Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa.
10
Awo omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'amufuula omwana we, n'amutuuma erinnya Musa.
11
Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda eri baganda be Abaebbulaniya; n'alaba okutuntuzibwa kwabwe. N'alaba Omumisiri ng'akuba Omwebbulaniya, ow'omu baganda be.
12
N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.
13
Awo ku lunaku olwokubiri n'addayo, n'alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana, n'agamba oyo eyakola obubi nti, “Kiki ekikukubizza munno?”
14
Omusajja n'amuddamu nti, “Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya n'agamba mu mutima gwe nti, “Mazima abantu baategedde kye nnakoze.”
15
Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka Falaawo, n'abeera mu nsi ya Midiyaani.
16
Awo lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi, abawala musanvu (7) aba kabona w'e Midiyaani ne bajja okusena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe.
17
Abasumba ne bajja ne babagoba; naye Musa n'asituka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe.
18
Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti, “Nga mukomyewo mangu leero?”
19
Ne boogera nti, “Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo.”
20
N'agamba bawala be nti, “Ali ludda wa? Kiki ekibalesezzaayo omuntu oyo? Mumuyite ajje alye ku emmere.”
21
Musa n'akkiriza okubeera ne Leweri; n'awa Musa, muwala we Zipola.
22
Zipola n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusomu; kubanga yagamba nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.”
23
Nga wayiseewo emyaka mingi, kabaka w'e Misiri n'afa, naye abaana ba Isiraeri ne basigala nga basinda olw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
24
Katonda n'awulira okusinda kwabwe, n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
25
Katonda n'alaba okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri, n'abasaasira.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40