bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 33
Exodus 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti, ‘Ndigiwa ezzadde lyo;’
2
era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi;
3
mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; kubanga nze siririnnya wakati mu mmwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu, nneme okukuzikiririza mu kkubo.”
4
Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala; ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo.
5
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza; kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.’ ”
6
Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.
7
Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.
8
Era Musa bwe yafulumanga n'agenda mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.
9
Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema, Mukama n'ayogera ne Musa.
10
Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema, abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.
11
Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate; naye omuweereza we Yoswa, omwana wa Nuuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.
12
Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, ondagira nti, ‘Twala abantu bano;’ n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti, ‘Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.’
13
Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nnalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.”
14
N'ayogera nti, “Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.”
15
N'amugamba nti, “Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano.
16
Bw'otoligenda naffe abantu balimanyira ku ki nti nze n'abantu bo twalaba ekisa mu maaso go? Bw'onoogenda naffe ekyo kye kiritwawula, nze n'abantu bo ku bantu abalala bonna abali ku nsi.”
17
Mukama n'agamba Musa nti, “Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola; kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.”
18
N'ayogera nti, “Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo.”
19
Mukama n'addamu nti, “Nja kuyita mu maaso go, olabe obulungi bwange bwonna, era nja kwatulira mu maaso go erinnya lyange: Nze MUKAMA. Nkwatirwa ekisa oyo gwe mba njagadde okukwatirwa ekisa, era nsaasira oyo gwe mba njagadde okusaasira.”
20
N'ayogera nti, “Toyinza kundaba maaso; kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu.”
21
Mukama n'ayogera nti, “Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja;
22
awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaabanga kiyita, nnaakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo;
23
ne nzigyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange; naye amaaso gange tegaalabike.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40