bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 21
Exodus 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 22 →
1
“Gano ge mateeka g'oliteeka mu maaso gaabwe.
2
Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga; awo mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde.
3
Oba nga yajja omu, agendanga omu; oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye.
4
Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu.
5
Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti, ‘Njagala mukama wange, mukazi wange, n'abaana bange; saagala kuweebwa ddembe kugenda,’
6
awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mwango; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.”
7
“Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, ye taweebwanga ddembe ng'abaddu bwe baweebwa.
8
Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga n'anunulibwa kitaawe, era taabenga na buyinza kumuguza bagwira, kubanga aba amuyisizza bubi nnyo.
9
Oba ng'amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala.
10
Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obufumbo tabikendeezangako.
11
Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali kusabayo bintu.”
12
“Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa.
13
Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi.
14
Naye omuntu bw'attanga muntu munne mu lukwe ng'agenderedde, ne bw'abanga addukidde ku kyoto kyange okuwona, aggyibwangako n'attibwa.”
15
“Akubanga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa.”
16
“Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.”
17
“Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.”
18
“Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda;
19
bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango; naye amugattanga olw'ebiseera bye yamwonoonera, era amujjanjabanga okutuusa lw'aliwona.”
20
Era omuntu bw'akubanga omuddu we, oba muzaana we n'omuggo, bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa.
21
Naye, bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga; kubanga oli bye bintu bye.
22
“Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto, ne luvaamu, naye ne watabaawo kabi kalala; talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga.
23
Naye bwe wabangawo akabi akalala, owangayo obulamu olw'obulamu,
24
eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere,
25
okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa.”
26
“Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye.
27
Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye.”
28
“Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango.
29
Naye ente nga ntomezi, nnannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga omusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nnannyiniyo attibwanga.
30
Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.
31
Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu.
32
Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza asatu (30), era n'ente ekubibwanga amayinja.”
33
“Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu,
34
nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nnannyiniyo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.”
35
“Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga.
36
Oba bwe kimanyibwanga ng'ente ntomezi nnannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40