bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 8
Exodus 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 9 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo, omugambe nti, Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, Leka abantu bange, bampeereze.
2
Era bw'onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndibonereza ensi yo, ne ngijjuzaamu ebikere.
3
Omugga gulijjula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku buliri, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo; eby'okugoyeramu.
4
Ebikere birikulinnyako ggwe, ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.”
5
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku myala, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.’ ”
6
Alooni n'agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bibikka ensi yonna ey'e Misiri.
7
N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri.
8
Falaawo n'alyoka ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Musabe Mukama anzigyeko ebikere nze n'abantu bange; nange nnaabaleka abantu, baweeyo ssaddaaka eri Mukama.”
9
Musa n'agamba Falaawo nti, “Ntegeeza ekiseera nze mwe mba nkusabira ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ebikere bizikirizibwe bikuveeko, bive ne mu nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka.”
10
N'ayogera nti, “Enkya.” Musa n'amuddamu nti, “Kibe nga bw'ogambye; olyoke otegeere nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe.
11
N'ebikere binaakuvaako ggwe, n'ennyumba zo, n'abaddu bo, n'abantu bo; ne bisigala mu mugga mwokka.”
12
Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo; Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere bye yaleetera Falaawo.
13
Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku.
14
Ne bakunganya entuumo n'entuumo z'ebikere; ensi yonna n'ewunya.
15
Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebikere biweddewo, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
16
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, efuuke ensekere zibune nsi yonna ey'e Misiri.’ ”
17
Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo gwe n'akuba enfuufu y'ensi ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. Enfuufu yonna mu nsi ey'e Misiri n'efuuka ensekere.
18
N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza. Ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo.
19
Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti, “Eno ye ngalo ya Katonda.” Naye Falaawo n'akakanyaza omutima gwe, n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.
20
Mukama n'agamba Musa nti, “Golokoka enkya mu matulutulu ogende osisinkane Falaawo bw'anaaba ng'afuluma okugenda ku mugga, omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Leka abantu bange, bampeereze.’
21
Naye bw'otoobaleke, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ne mu nnyumba zo; ennyumba n'ebibanja by'Abamisiri birijjula ensowera.
22
Nange ku lunaku olwo nditaliza ensi ey'e Goseni, abantu bange gye babeera, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke otegeere nga nze Mukama ali wakati mu nsi.
23
Nange ndiraga enjawulo wakati mu bantu bange n'ababo; enkya akabonero kano lwe kanaabeererawo”
24
Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera bingi ne bijja mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be; ne mu nsi yonna ey'e Misiri; ensi n'efaafaagana olw'ebikuukuulu by'ensowera.
25
Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Kale mugende muweeyo ssaddaaka eri Katonda wammwe nga muli mu nsi eno.”
26
Musa n'ayogera nti, “Si kirungi okukola ekyo; kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta?
27
Kale tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.”
28
Falaawo n'ayogera nti, “Nnaabaleka, mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, wabula kino kyokka; temugenda wala nnyo. Nange munsabire.”
29
Musa n'ayogera nti, “Bwe naava mu maaso go, enkya n'asaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwe ku Falaawo, ne ku baddu be, ne ku abantu be; wabula kino kyokka, Falaawo aleme okwongera okulimba nate okugaana abantu okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
30
Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama.
31
Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; n'aggyirawo Falaawo, abaddu be, n'abantu be ebikuukuulu by'ensowera; ne watasigala n'emu.
32
Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'ataleka bantu kugenda.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40