bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 28
Exodus 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 29 →
1
“Era sembeza gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, bampeereze mu bwakabona; Alooni n'abaana be: Nadabu, Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
2
Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuvu olw'ekitiibwa n'olw'obulungi.
3
Era olibagamba bonna abasobola okukola, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni ayawulibwe, ampeereze mu bwakabona.
4
Bino bye byambalo bye balikola: eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibaawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba; era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, bampeereze mu bwakabona.
5
Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta.”
6
“Era balikola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi.
7
Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu.
8
N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa.
9
Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri;
10
amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja eryokubiri, nga bwe bazaalibwa.
11
Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; oligeetoolooza amapeesa aga zaabu.
12
Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri; era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.
13
Era olikola amapeesa aga zaabu;
14
n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa; era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa.”
15
“Era olikola eky'omu kifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi; ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola.
16
Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo.
17
Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadiyo, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olwolubereberye;
18
n'olunnyiriri olwokubiri lya nnawandagala, safiro, ne alimasi;
19
n'olunnyiriri olwokusatu luliba lwa yakinso, ne sebu, ne amesusito;
20
n'olunnyiriri olwokuna berulo, ne onuku, ne yasipero; galyetooloozebwa zaabu we gaatonebwa.
21
N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri (12), ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri (12).
22
Era olikola ku ky'omukifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi.
23
Era olikola ku ky'omukifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka zombi ku nsonda ebbiri ez'eky'omukifuba.
24
Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'eky'omukifuba.
25
N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibbwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso.
26
Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omukifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda.
27
Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibbwa n'amagezi.
28
Era balisiba eky'omu kifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu.
29
Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
30
Era oliteeka mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama, Ulimu ne Sumimu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama; ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.”
31
“Era olikola omunagiro ogw'oku kkanzu nga gwonna gwa kaniki.
32
Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe; gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa.
33
Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola:
34
endege eya zaabu n'enkomamawanga, endege eya zaabu n'enkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola.
35
Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.”
36
“Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.
37
N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga.
38
Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni; ne Alooni anettikkanga okusobya kw'abaana ba Isiraeri nga bawaayo ebirabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.”
39
“Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza.”
40
“Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi.
41
N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.
42
Era olibakolera seruwale za lugoye, okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi;
43
Alooni ne batabani be banaabanga bazambadde, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa; kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40