bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 10
Exodus 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 11 →
1
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe;
2
olyoke otegeeze abaana bo n'abazzukulu bo obubonero bwange bwe nkoze mu Misiri, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”
3
Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze.
4
Naye, bw'onoogaana okuleka abantu bange okugenda, laba, enkya n'aleeta enzige mu nsi yo;
5
ziribikka ensi ereme okulabika, zirirya byonna omuzira bye gwataliza n'emiti gyonna egy'omu nnimiro;
6
era enzige zirijjula ennyumba zo, n'ezabaddu bo, n'ez'Abamisiri zonna; ziriba nnyingi nnyo, era nga bakitammwe ne bajjajjammwe tebazirabangako kasookedde ensi ebaawo.’ ” Musa n'akyuka, n'ava awali Falaawo.
7
Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu, bagende baweereze Mukama Katonda waabwe; tonnamanya nga Misiri yonna efaafaaganye?”
8
Musa ne Alooni ne bakomezebwawo eri Falaawo; n'abagamba nti, “Kale mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe; naye b'ani abanaagenda nammwe?”
9
Musa n'addamu nti, “Tunaagenda n'abaana baffe abato, ne bakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi, n'ab'obuwala, n'endiga n'ente zaffe; kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.”
10
Falaawo n'addamu nti, “ Ndayira Mukama, sijja kubaleka kugenda, mmwe n'abaana bammwe abawere; kirabika mulina olukwe lwe mutegeka.
11
Nedda, mmwe abasajja abakulu mmwe muba mugenda muweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.
12
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri enzige zigwe ku nsi yonna ey'e Misiri; zirye omuddo gwonna ne byonna omuzira bye gwalekawo.”
13
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku olwo, ezaakunta emisana n'ekiro; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba zaali zireese enzige.
14
Enzige ne zigwa ku nsi yonna ey'e Misiri, zaali nnyingi nnyo, ezitalabwangako okuva edda n'edda lyonna, wadde oluvannyuma lwazo.
15
Zaabikka ku nsi yonna ey'e Misiri, n'ekwata ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti omuzira bye gwalekawo; ne watasigala kikoola kyonna ku muti, newakubadde omuddo ogw'omu nnimiro mu nsi yonna ey'e Misiri.
16
Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti, “Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, era nammwe.
17
Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko ekibonyoobonyo kino ekinene.”
18
Musa n'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama.
19
Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu, newatasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri.
20
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atakkiriza baana ba Isiraeri kugenda.
21
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekikutte bezzigizigi.”
22
Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba ku nsi yonna ey'e Misiri okumala ennaku ssatu.
23
Abamisiri nga tebasobola kulabagana, era tewali yasobola okuva mu kifo mwe yali okumala ennaku ssatu, naye abaana ba Isiraeri bonna baalina ekitangaala yonna gye baali.
24
Falaawo n'ayita Musa n'amugamba nti, “Mugende muweereze Mukama; endiga n'ente zammwe zisigale, naye abaana abawere mugende nabo.”
25
Musa n'amuddamu nti, “Bwe kiba bwe kityo oba olina okutuwa ensolo n'ebiweebwayo ebyokebwa, bye tunaawaayo nga ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.
26
Naye tuteekwa okugenda n'amagana gaffe; waleme kusigalawo nsolo n'emu, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Naye tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa nga tumaze okutuukayo.”
27
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atakkiriza kubaleka kugenda.
28
Falaawo n'amugamba nti, “Vva we ndi, weekuume, oleme kuddayo kulabika mu maaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange ogenda kufa.”
29
Musa n'amuddamu nti, “Oyogedde bulungi; sijja kuddayo kulabika mu maaso go.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40