bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 18
Exodus 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 19 →
1
Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri.
2
Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'azzaayo Zipola mukazi wa Musa, gwe yali agobye;
3
ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu ku bo Gerusomu; kubanga yayogera nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.”
4
N'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti, “Katonda wa kitange yali mubeezi wange, n'amponya mu kitala kya Falaawo.”
5
Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be, ne mukazi we, eri Musa mu ddungu eryo, eyo gye yasula ku lusozi lwa Katonda.
6
N'agamba Musa nti, “Nze mukoddomi wo Yesero, nzize gy'oli ne mukazi wo, n'abaana be bombi wamu naye.”
7
Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti, “Otyanno?” Ne bayingira mu weema.
8
Musa n'abuulira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya.
9
Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri.
10
Yesero n'ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri.
11
Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna; kubanga yawonya abantu okufugibwa Abamisiri abaabeekulumbalizaako.”
12
Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda; Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda.
13
Awo olwatuuka enkya, Musa n'atuula okulamula abantu, abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okuva enkya okutuusa akawungeezi.
14
Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti, “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.”
15
Musa n'agamba mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda;
16
bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.”
17
Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti, “Ekigambo ky'okola si kirungi.
18
Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe, kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe; toyinza kukituukiriza wekka.
19
Kaakano wuliriza, nze ka nkuwe amagezi, Katonda abeere naawe. Ggwe beera mubaka wa bantu eri Katonda, era otuuse ensonga zaabwe gy'ali;
20
naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola.
21
Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'ataano, n'abakulu b'amakumi;
22
babasalire emisango ebiseera byonna; kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka, bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe.
23
Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.”
24
Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera.
25
Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza mu bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi.
26
Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka.
27
Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40