bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Exodus 22
Exodus 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 23 →
1
“Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga.
2
Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe.
3
Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe, kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.
4
Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.”
5
“Omuntu bwalekanga ensolo ye okuliira mu lusuku oba mu nnimiro ey'emizabbibu, ensolo n'egenda erya mu lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.”
6
“Omuliro bwe gulandanga ne gwokya emitwalo gye ŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro, ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.”
7
“Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba ebintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri.
8
Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.
9
Bwe wabangawo okukaayana olw'ebintu oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti, ‘Kye kino,’ ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oyo Katonda gw'asaliranga omusango, aliwanga emirundi ebiri.”
10
“Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba n'erumizibwa, oba n'ebbibwa nga tewali muntu alaba;
11
ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nnannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga.
12
Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nnannyiniyo.
13
Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.”
14
“Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga nnannyinikyo taliiwo, talemanga kumuliyira.
15
Nnannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga; naye bwe kibanga kyapangisibwa, omuwendo gw'okupangisa gunaamalanga.”
16
“Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.
17
Kitaawe bw'anaaganiranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.”
18
“Omukazi omulogo tomulekanga nga mulamu.”
19
“Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.”
20
“Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikiririzibwanga ddala.”
21
“Era munnaggwanga tomuyisanga bubi, so tomulumyanga; kubanga mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri.
22
Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga.
23
Bw'onoobabonyabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwabwe;
24
era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange nnaabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.”
25
“Bw'owolanga effeeza omu ku bantu bange abaavu, tomubanjanga ng'omuwozi w'ensimbi bw'abanja, n'omusaba amagoba.
26
Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa;
27
kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe; aneebikka ki? Awo, bw'anankaabiranga, nnaawuliranga; kubanga nnina ekisa.”
28
“Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo.”
29
“Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.
30
Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.”
31
“Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi; kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40