bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 1
Leviticus 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 2 →
1
Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti,
2
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti omuntu yenna mu mmwe bwawangayo ekiweebwayo, anaakiggyanga ku nte ze, oba ku mbuzi ze.
3
“Bw'anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema; anaagiweerangayo ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
4
Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira.
5
Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'ekyoto ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
6
Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo.
7
Awo abaana ba Alooni kabona, banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro;
8
awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto;
9
naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi; awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10
“Era bw'anaawangayo ku ndiga ze oba ku mbuzi ze, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, anaawangayo nnume eteriiko bulema.
11
Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiikakkono mu maaso ga Mukama; n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
12
Awo anaagisalangamu ebitundu byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo; awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto;
13
naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi; awo kabona anaawangayo byonna, anaabyokeranga ku kyoto; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
14
“Era bw'anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukamukuukulu oba amayiba amato.
15
Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto;
16
awo anaakaggyangamu ekisakiro kyako n'ebikirimu n'abisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu;
17
era anaakayuzanga n'ebiwawaatiro byako, takasalangamu. Awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27