bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 14
Leviticus 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 15 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge anaaleetebwanga eri kabona ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe.
3
Kabona anaafulumanga mu lusiisira n'amukebera, bw'anaalabanga ng'endwadde y'ebigenge ewonye,
4
kabona anaalangiriranga baleetere oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi ennongoofu ennamu bbiri, omuti omwerezi, olugoye olumyufu n'ezobu.
5
Awo kabona anaalagiranga okuttira emu ku nnyonyi ezo mu kintu eky'ebbumba, omuli amazzi agavudde mu nsulo ezikulukuta.
6
Kabona anaddiranga ennyonyi ennamu, omuti omwerezi, olugoye olumyufu ne ezobu, byonna n'abinyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa;
7
awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale.
8
N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu; oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
9
Ku lunaku olw'omusanvu, nate anaamwangako enviiri ze zonna, n'ebirevu n'ebisige, era anaayozanga engoye ze n'anaaba omubiri, n'alyoka abeera omulongoofu.”
10
“Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogw'omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya kimu eky'amafuta.
11
Ne kabona amulongoosa, anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
12
Awo kabona anaddirangako ogumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya eky'amafuta, n'abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama;
13
awo anattiranga omwana gw'endiga omulume mu kifo ekitukuvu mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo; kitukuvu nnyo.
14
Awo kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja ekya ddyo.
15
Ate kabona anaddiranga ku mafuta ag'omukibya n'agafuka mu kibatu ky'omukono gwe ogwa kkono,
16
awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'agamansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama.
17
Anaatoolanga ku mafuta agasigaddewo mu kibatu kye, ne ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'abisiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, okw'oyo agenda okulongoosebwa.
18
N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama.
19
Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe, oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa;
20
era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto. Bw'atyo Kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.”
21
“Naye bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;
22
ne bukaamukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okubifuna; ejjiba erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
23
Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama.
24
Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa.
25
Awo kabona anattanga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'agusiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja, ebyoyo agenda okulongoosebwa.
26
Awo kabona anaafukanga amafuta mu kibatu eky'omukono gwe ogwa kkono;
27
n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama;
28
kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe, n'agasiiga ku nsonda y'okutu okwa ddyo, ku kinkumu eky'okumukono gwe ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja eky'okugulu okwa ddyo, eby'oyo agenda okulongoosebwa.
29
N'amafuta agasigaddewo mu kibatu kya kabona, anaagasiiganga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, n'amutangirira mu maaso ga Mukama.
30
Anaawangayo akamu ku bukaamukuukulu oba erimu ku mayiba amato nga bw'anaabanga asobodde okufuna;
31
Ejjiba erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama.
32
Eryo lye tteeka ly'omugenge omwavu.”
33
Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
34
“Bwe mutuukanga mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba zammwe;
35
awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti, ‘Ennyumba yange enfaananira okubaamu endwadde y'ebigenge.’
36
Kabona nga tannaba kuyingira kulaba nnyumba, anaalagiranga okuggyamu ebintu byonna ebiri mu nnyumba, bireme okufuuka ebitali birongoofu; awo oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba.
37
Kabona bw'anaalabanga ng'ebisenge birimu enjatika munda, oba amabala agakiragalalagala oba amamyufumyufu, nga gasensedde munda mu kisenge,
38
awo kabona n'alyoka afuluma okuggalawo ennyumba okumala ennaku musanvu.
39
Ku lunaku olw'omusanvu n'ayongera okukebera endwadde; era bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba;
40
kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga;
41
era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokose ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu;
42
ne baddira amayinja amalala, ne bagazza mu kifo kya gali ge baggyeemu, n'ennoni endala ne bagisiiga ku bisenge bye nnyumba.”
43
“Naye endwadde bw'eneekomangawo n'esaasaana mu nnyumba emaze okuggyibwamu amayinja n'okukolokotebwako ennoni, era n'okusiigibwako endala;
44
kale kabona anaayingiranga n'akebera, bw'anaakizuulanga ng'endwadde ebunye ennyumba eyo; ebyo nga bye bigenge ebizibu ennyo, ng'ennyumba eyo si nnongoofu.
45
Awo kabona anaayabyanga ennyumba yonna, amayinja gaayo, emiti, n'ennoni; byonna anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu.
46
Naye buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera ky'eneebanga nga nzigale, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47
Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze.”
48
“Ennyumba bw'eneemalanga okusiigibwako ennoni, kabona n'ayingira n'akebera, n'alaba ng'endwadde tebunye ku nnyumba, kale anaalangiriranga ennyumba eyo nga nnongoofu, olwo ng'endwadde ewonye.
49
Awo anaatwalanga ennyonyi bbiri, omuti omwerezi, olugoye olumyufu, n'ezobu olw'okulongoosa ennyumba.
50
Awo anattanga emu ku nnyonyi mu kintu eky'ebbumba omuli amazzi agagiddwa mu nsulo ekulukuta.
51
N'addira omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu, n'ennyonyi ennamu, byonna n'abinnyikira wamu mu kibya omuli omusaayi gw'ennyonyi ettiddwa; n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu.
52
Era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi agavudde mu nsulo ekulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu n'olugoye olumyufu;
53
naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu bbanga mu ttale, okuva mu kibuga; bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba n'eba ennongoofu.”
54
Eryo lye tteeka erikwata ku ndwadde ey'ebigenge: eby'ekikakampa,
55
eby'okukyambalo, n'eby'omunnyumba;
56
era ery'ekizimba n'okubutuka n'ery'embalabe erungudde,
57
okwawulanga ekitali kirongoofu, n'ekirongoofu; eryo lye tteeka ly'ebigenge.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27