bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 27
Leviticus 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo ng'awaayo emiwendo gy'ensimbi gino:
3
Omusajja ow'emyaka abiri (20) okutuusa ku myaka nkaaga (60), omuwendo gw'anaawangayo gunaabanga sekeri za ffeeza ataano (50), nga sekeri y'omuwatukuvu bw'eri.
4
Bw'anaabanga omuwala omuwendo gunaabanga sekeri asatu (30).
5
Bw'anaabanga omulenzi ow'emyaka etaano okutuuka ku ataano, omuwendo gunaabanga sekeri abiri (20), n'omuwala sekeri kkumi (10).
6
Omulenzi ow'omwezi ogumu okutuuka ku myaka etaano, omuwendo gunaabanga sekeri za feeza ttaano n'omuwala sekeri za feeza ssatu.
7
Omuwendo gw'omusajja asussa emyaka enkaaga (60), gunaabanga sekeri kkumi na ttaano (15), n'ogw'omukazi sekeri kkumi (10).
8
Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira muwendo gwa muntu oyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo oyo awaayo ky'asobola okusasula.”
9
“Obweyamo bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekirabo eri Mukama, olwo ebirabo byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu.
10
Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawaanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama.
11
Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekirabo eri Mukama, anaagireetanga mu maaso ga kabona;
12
kale kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo.
13
Naye bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kyayo ekyokutaano ku muwendo ogwagisalirwa.”
14
“Omuntu bw'anaawangayo ennyumba ye okuba eya Mukama, kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo.
15
Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'ebintu by'olamudde n'eba yiye.”
16
“Omuntu bw'anaawangayo ekitundu ky'ettaka lye okuba erya Mukama, kale omuwendo gwalyo gunaabalwanga okusinziira ku bungi bw'ensigo ezigendawo. Ennimiro esigibwamu komeri ya sayiri, omuwendo gwayo gunaabanga sekeri eza feeza ataano (50).
17
Bw'anaawangayo ennimiro ye oluvannyuma lw'omwaka gwa jjubiri, enaabanga ku muwendo gwonna ogugiramuliddwa.
18
Bw'anaagiwangayo ng'omwaka ogwa jjubiri guweddeko, kabona anaagibaliriranga omuwendo gwayo okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka akendeeza ku muwendo gwayo.
19
Oyo eyagiwaayo eri Mukama bw'anaayagalanga okuginunula, anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa.
20
Bw'ataayagalenga kuginunula, oba bw'anaagiguzanga omuntu omulala nga tannaginunula, eneebanga tekyayinza kununulibwa.
21
Naye ennimiro bw'eneetuusanga jjubiri nga tenunuddwa eneebanga ya Mukama, era kabona anaagitwalanga.”
22
“Omuntu bw'anaawangayo ennimiro eri Mukama gye yagula obuguzi, nga si ya butaka bwe,
23
kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku jjubiri, era agiwaddeyo anaasasulanga omuwendo ogwo okuba ogwa Mukama.
24
Mu mwaka gwa jjubiri ennimiro eneddanga eri oyo eyagitunda, ye nannyini butaka obw'ennimiro.”
25
“Okulamula kwonna kunaabanga ng'omuwendo gwa sekeri ogw'omuwatukuvu bwe guli. Gera abiri (20) zinaabanga sekeri emu.”
26
“Ensolo en'eggulanga enda oba nte oba ndiga, eba ya Mukama; teweebwangayo nga kiweebwayo.
27
Era bw'eneebanga ensolo eteri nnongoofu, kabona anaagiramulanga nga bw'alaba, era eneenunulwanga nga egattibwako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa. Bw'eteenunulibwenga, eneetundibwanga ng'omuwendo gwayo bwe guli.”
28
“Ku ebyo byonna omuntu bye yeeyama okuwaayo eri Mukama, oba muntu, oba nsolo, oba nnimiro, tebitwalibwanga era tebitundibwanga era tebinunulwanga; bya Mukama.
29
Ne bw'abeeranga muntu eyawongebwa eri Mukama, tanunulibwanga, wabula attibwenga buttibwa.”
30
“Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama; biba bitukuvu eri Mukama.
31
Era omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby'ekkumi, anaagattangako ekitundu kyabyo ekyokutaano.
32
Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama.
33
Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga, n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu, tenunulibwanga.”
34
Ebyo bye biragiro, Mukama bye yawa Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27