bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 25
Leviticus 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 26 →
1
Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti
2
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga temulima nsi eyo buli mwaka ogw'omusanvu.
3
Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliranga emyaka mukaaga, era n'okungula ebibala byalwo;
4
naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako eri ensi, Ssabbiiti eri Mukama; tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo.
5
Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga; gunaabanga mwaka gwa kuleka ttaka liwummule.
6
Era Ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe;
7
n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya.”
8
“Era oneebaliranga Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda (49).
9
Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu; ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.
10
Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano (50), ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.
11
Omwaka ogwo ogw'ataano (50) gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire.
12
Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro.”
13
“Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe.
14
Kale bwemubanga muguza Baisiraeri bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako temulyazaamanyagananga.
15
Omuwendo gunaagerekebwanga okusinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okulirimirako nga terinnaddizibwa nannyini lyo.
16
Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gunaasinziiranga ku makungula agasigaddeyo ng'ettaka terinnaddizibwa nnannyini lyo.
17
So temulyazaamaanyagananga; naye mutyenga Katonda wammwe; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
18
“Bwemunaawuliranga amateeka gange ne mugagondera munaabanga n'emirembe mu nsi.
19
Ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga ne mukkuta, ne mugituulamu mirembe.
20
Era muyinza okwebuuza nti, ‘Mu mwaka ogw'omusanvu tulirya ki nga tetusize so nga tetukungudde?’
21
Ndibawa omukisa mu mwaka ogw'omukaaga, ensi n'ebaza emmere eribamala mu myaka gyonsatule.
22
Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga.
23
Ettaka teritundibwanga okulyeggyirako ddala olubeerera kubanga lyange, kubanga mmwe muli bagenyi era abayise be nnasenza.
24
Bwe munaatundanga ettaka ery'obutaka bwammwe, munakkirizanga nannyiniryo eyasooka okulinunula.”
25
“Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze.
26
Atalina ayinza kulinunula, bw'agaggawalanga n'afuna ebimala okulinunula,
27
anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka alyeddiza.
28
Bw'anaabanga tasobola kulyeddiza, linaasigalanga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuusa mu mwaka ogwa jjubiri; olwo ne liryoka liteebwa mu mwaka ogwa jjubiri ne liddira nannyiniryo.”
29
“Era omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye gy'abeeramu ng'eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaayinzanga okuginunula ng'omwaka omulamba tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okuginunula.
30
Era bw'eteenunulibwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eyo eri mu kibuga ekiriko bbugwe, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula ennaku zonna, teddizibwanga nnannyiniyo mu mwaka ogwa jjubiri.
31
Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalibwanga bumu n'ennimiro ez'omu byalo; zinaayinzanga okununulibwa, ne ziddira bannannyinizo mu mwaka ogwa jjubiri.
32
Naye ennyumba ez'Abaleevi eziri mu bibuga eby'obutaka bwabwe, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna.
33
Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogwa jjubiri, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, bwe butaka bwabwe ennaku zonna mu Baisiraeri.
34
Naye ettaka erirundirwako eririraanye ebibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga obwo bwe butaka bwabwe ennaku zonna.”
35
“Muisiraeri munno bw'ayavuwalanga nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera.
36
Tomuggyangako magoba; naye otyanga Katonda wo, muganda wo alyoke abeerenga naawe.
37
Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya.
38
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, era okuba Katonda wammwe.”
39
“Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde ddala, nga takyesobola, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga;
40
anaabeeranga naawe ng'omukozi ow'empeera era ng'omutambuze akolera empeera era; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri,
41
n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be, n'adda mu butaka bwa kitaawe.
42
Kubanga Abaisiraeri baddu bange, be n'aggya mu nsi y'e Misiri; temutundibwanga kuba baddu.
43
Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo.
44
Munaagulanga abaddu n'abazaana okuva mu mawanga agabeetoolodde.
45
Era ne ku baana ba bannamawanga abatuula mu mmwe oba ku ŋŋanda zaabwe, oba be baazaalira mu nsi yammwe; nabo banaabanga nvuma zammwe.
46
Era banaabanga nvuma eri abaana bammwe abanaabaddiriranga; ku abo kwe munaggyanga abaddu ennaku zonna; naye baganda bammwe, abaana ba Isiraeri temubafuulanga baddu.”
47
“Era munnaggwanga oba omutambuze bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde ddala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba omutambuze ali naawe, oba eri ow'olulyo lwabwe,
48
bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa omu ku baganda be;
49
akyayinza okuba kojja we, oba omuntu yenna amuli okumpi mu luganda, oba bw'aba nga agaggawadde anaayinzanga okwenunula yekka.
50
Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, era omuwendo gw'anaamusasulanga gunaabanga ng'ogw'omukozi ow'empeera bwe guba, ogw'ebbanga eryo.
51
Ekiseera ekisigaddeyo bwe kinaabanga ekinene anaamuddizanga ku muwendo gwe yamugula.
52
Emyaka bwe ginaabanga emitono okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, anaamusasulanga omuwendo ogubalirirwa mu myaka egyo egisigaddeyo.
53
Anaabanga naye ng'omukozi ow'empeera buli mwaka, naye tamufuulanga muddu.
54
Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaanunulibwanga mu mwaka gwa jjubiri n'abaana be.
55
Kubanga muli baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27