bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 11
Leviticus 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 12 →
1
Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni n'agamba nti,
2
“Mugambe abaana ba Isiraeri nti bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi.
3
Buli nsolo erina ekinuulo ekyawulemu, era erina ekigere ekyaseemu, era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga.
4
Naye Zino ze mutalyanga ku ezo ezizza obwenkulumu oba ku ezo ezaawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli.
5
Omusu, kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli.
6
Akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli.
7
Embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo, era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.
8
Temulyanga ku nnyama yaazo, so temuzikomangako nga zifudde, kubanga si nnongoofu gye muli.
9
“Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga. Ebyo bye munaalyanga.
10
Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
11
Binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, so temubikomangako nga bifudde.
12
Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli.
13
“Nazino ze nnyonyi ez'omuzizo zemutalyenga: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
14
kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo;
15
nnamuŋŋoona n'engeri ye;
16
maaya, olubugabuga, olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
17
ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkukufu;
18
ekiwuugulu eky'amatu, kimbala, n'ensega;
19
kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, ekkookootezi, n'ekinyira.
20
“Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana, binaabaanga bya muzizo gye muli.
21
Naye bino bye muyinza okulya ku biwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro era ebitambuza amagulu ana: ebyo ebibuukabuuka n'amagulu gaabyo ku ttaka.
22
Bino bye muyinza okulya ku ebyo: enzige n'engeri yaayo, enseenene n'engeri yaayo, akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo.
23
Naye ebiwuka ebirala ebirina ebiwaawaatiro, eby'amagulu ana bya muzizo gye muli.
24
“Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaabikomangako nga bifudde anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi,
25
era buli asitula efudde ku zo, anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26
Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era nga terina kigere kyaseemu, ate nga tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.
27
Era buli nsolo ey'amagulu ana etambuza ebibatu byayo, si nnongoofu gye muli; buli anaagikomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28
Ensolo zino si nnongoofu gye muli, era n'oyo anaazisitulanga nga zifudde anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
29
“Ku ebyo ebitambulira ku ttaka, bino si birongoofu gye muli: eggunju, emmese, ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo,
30
ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu.
31
Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebitambulira ku ttaka; buli anaabikomangako nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32
Era ekimu ku ebyo ekifudde, bwe kinaagwanga ku kintu kyonna, kinaakifuulanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo oba kintu kyonna kyonna, ekikozesebwa omulimu gwonna, kinaateekebwanga mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.
33
Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo munaakyasanga.
34
Buli ekiriibwa bwe kinaayikangako amazzi agavudde mu kye bbumba ekitali kirongoofu; kinaabanga ekitali kirongoofu, era buli kya kunywa ekinanywebwanga okuva mu ky'ebbumba ekyo, kinaabanga ekitali kirongoofu.
35
Era buli kintu ekinaagwibwangako ekintu kyonna ku ebyo ebifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; oba nga kigudde ku kabiga, oba masiga, kinaamenyebwamenyebwanga; si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.
36
Naye oluzzi oba ekidiba bwe kinaafiirangamu ekimu ku ebyo ebitali birongoofu, oluzzi olwo n'ekidiba binaasigalanga nga birongoofu, naye ekinaakomanga ku ekyo ekifiiriddemu, kinaabanga ekitali kirongoofu.
37
Era oba nga ekitali kirongoofu ekifudde, kikoma ku nsigo yonna ey'okusiga, yo eneesigalanga nga nnongoofu;
38
Naye singa ensigo eba ennyikiddwa mu mazzi, ekimu ku ebyo ekifudde ne kimala kigikomako, eneefuukanga eteri nnongoofu gye muli.
39
“Era oba ng'ensolo yonna, eriibwa efa, akoma ku yo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40
N'oyo anaagiryangako anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era n'oyo anaagiggyangawo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41
“Buli ekitambula nga kyewalula ku ttaka kya muzizo; tekiriibwanga.
42
Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo.
43
Temweyonoonesanga na kyewalula kyonna, muleme okuba abatali balongoofu.
44
Kubanga nze Mukama Katonda wammwe; kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu. Temweyonoonanga na ngeri yonna ey'ekyewalula ku nsi so.
45
Kubanga nze Mukama eyabaggya mu nsi ey'e Misiri okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
46
Eryo lye tteeka erikwata ku nsolo ne ku nnyonyi, na ku buli kitonde ekiramu ekitambulira mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalulira ku nsi,
47
okwawulangamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ebiramu ebiriibwa n'ebitaliibwa.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27