bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 19
Leviticus 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 20 →
1
Mukama n'ayogera ne Musa nti,
2
“Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Munaabanga batukuvu; kubanga Nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3
Buli muntu assengamu ekitiibwa kitaawe ne nnyina; Nze Mukama Katonda wammwe.
4
Temunvangako ne musinza ebifaananyi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: Nze Mukama Katonda wammwe.”
5
“Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.
6
Munaagiriiranga ku lunaku olwo lwe mugiweereddeko n'oluddirira, era bw'efikkangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga n'omuliro.
7
Etuusizza olunaku olwokusatu, teribwangako n'akatono; yamuzizo.
8
Buli anaakiryangako anaabanga atali mutuukirivu, kubanga ayonoonye ekintu ekitukuvu ekya Mukama era anaazikirizibwanga okuva mu bantu be.”
9
“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebiba bisigaddemu;
10
so temumalirangamu ddala bibala bya mizabbibu, so temuddengayo kulonderera bibala biba bikunkumuse; on'obirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.”
11
“Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka.
12
So temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa ne muvumisa erinnya lya Katonda wammwe: Nze Mukama.
13
Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga; empeera y'omukozi tosulanga nayo okukeesa obudde.
14
Tokolimiranga muggavu wa matu, so toteerangawo muzibe w'amaaso nkonge okugyesittalako, naye onootyanga Katonda wo: Nze Mukama.
15
Musalenga emisango mu mazima n'obwenkanya, tosalirizanga mwavu olw'omugagga ali naawe, ne muliraanwawo onoomusaliranga omusango mu mazima.
16
Tobanga wa lugambo mu bantu bo, so tewekobanaanga kukola kabi ku muliraanwa wo: Nze Mukama.”
17
“Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo, tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.
18
Towalananga ggwanga, so tobanga na kiruyi eri mulirwanaawo, naye onoomwagalanga nga bwe weeyagala wekka: Nze Mukama.”
19
“Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo nga si za ngeri emu. Tosiganga mu nnimiro yo nsigo ezitali za ngeri emu. Toyambalanga kyambalo kya ngeri bbiri ezitafaanagana.”
20
“Buli anaasulanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, era nga tanunulwanga, so nga taweebwanga ddembe, bombi banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana yali tanunulwanga.
21
Awo omusajja oyo anaaleetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, endiga ennume, okuba ekiweebwayo eri Mukama olw'omusango.
22
Awo kabona anaamutangirizanga endiga eyo ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; era anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.”
23
“Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egy'ebibala ebiriibwa, ebibala ebyo temubiryangako okumala emyaka esatu kubanga biriba si birongoofu gye muli.
24
Naye mu mwaka ogwokuna ebibala ebyo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama.
25
Naye mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala ebyo. Bwe mulituukiriza ebyo byonna mulifuna ekyengera: Nze Mukama Katonda wammwe.”
26
“Temulyanga nnyama yonna ng'ekyalimu omusaayi, so temuloganga era temulagulanga.
27
Temumwanga nkiiya, so temukomolanga birevu byammwe.
28
Temwesalanga misale ku mibiri gyammwe olw'abafu, wadde okweyolako enjola olw'okwewoomya: Nze Mukama.”
29
“Temwonoonanga bawala bammwe nga mu bawaayo mu bwenzi, ensi ereme okwonooneka olw'obwenzi, n'ejjula ebibi.
30
Mwekuumenga Ssabbiiti zange, era mussengamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu: Nze Mukama.”
31
“Temugendanga eri abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga muleme okwonooneka: Nze Mukama Katonda wammwe.”
32
“Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: Nze Mukama.”
33
“Era munnaggwanga bw'anaatuulanga nammwe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi.
34
Munnaggwanga anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era munaamwagalanga nga bwe mweeyagala mwekka, kubanga nammwe mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”
35
“Temusalirizanga so temukumpanyanga nga mukozesa ebipimo ebitali bituufu mu kupima obuwanvu, obuzito n'obungi bw'ebintu.
36
Munaabanga ne minzaani entuufu, n'ebigera ebituufu, efa entuufu, ne ini entuufu: Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
37
Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna mubituukirizenga: Nze Mukama.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27