bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 22
Leviticus 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 23 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Gamba Alooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu abaana ba Isiraeri bye bawaayo gyendi; balemenga okuvumaganyisa erinnya lyange ettukuvu: Nze Mukama.
3
Bagambe nti, Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nga si mulongoofu, anaaboolebwanga mu maaso gange: Nze Mukama.
4
Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni alwadde ebigenge oba enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa ng'alongooseddwa. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu bw'anaakomanga ku kintu ekifudde, oba ku musajja avuddemu amaanyi ag'ekisajja;
5
oba bw'anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba bw'anaakomanga ku muntu yenna atali mulongoofu;
6
kabona oyo anaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mutukuvu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri gwe n'amazzi.
7
Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo y'emmere ye.
8
Ennyama y'ensolo efudde yokka oba etaaguddwataaguddwa ensolo ey'omu nsiko, tagiryangako okufuuka atali mulongoofu: Nze Mukama.
9
Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga okwonoona, ne bafa olw'okubinyoomoola: Nze Mukama abatukuza.”
10
“Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu, wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako.
11
Naye omuddu kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abazaaliddwa mu nnyumba ye, bo banaalyanga ku mmere ye.
12
Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali mu lulyo lwa bakabona, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu.
13
Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe; naye atali mu lulyo lwa bakabona taagiryengako.
14
Era omuntu atali mu lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, kale anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'agattako n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
15
Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama;
16
nga bakkiriza abatali mu lulyo lwa bakabona okubiryako, ne babaleetera omusango n'ekibonerezo: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.”
17
Mukama n'agamba Musa nti,
18
“Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti buli mu Isiraeri yenna, oba munnaggwanga ali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone kye eky'obweyamo oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama;
19
anaawangayo, ente ennume, oba endiga, oba embuzi eteriiko mulema, alyoke akkirizibwe.
20
Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo; kubanga tekikkirizibwenga.
21
Buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde: ente oba embuzi, eneebanga eteriiko bulema eryoke ekkirizibwe.
22
Enzibe y'amaaso, emmenyefu, ennema, eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ku kyoto.
23
Ente oba endiga ento eriko ekintu kyonna ekikyamu ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekiweebwayo kye weeyagalidde, so ssi kugiwaayo ng'obweyamo.
24
Eyabetentebwa, eyanyigibwa, eyayatika, oba eyasalibwako enjagi zaayo, eyo temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe.
25
Ensolo ze muggye mu bannamawanga temuziwangayo eri Katonda wammwe ng'ekiweebwayo eky'okulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko obulema era tezikkirizibwenga.”
26
Mukama n'agamba Musa nti,
27
“Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo eneekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
28
Temuttanga ente oba endiga, n'omwana gwayo, byombi ku lunaku olumu.
29
Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo nga mugoberera amateeka, mulyoke mukkirizibwe.
30
Eneeriibwanga ku lunaku olwo; temugirekangawo okutuusa enkya: Nze Mukama.”
31
“Muneekuumanga ebiragiro byange, ne mubituukiriza: Nze Mukama.
32
So temuvumaganyanga linnya lyange ettukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri bonna: Nze Mukama abatukuza,
33
eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: Nze Mukama.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27