bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 3
Leviticus 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 4 →
1
“Era omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe, ku nte oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama.
2
Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
3
Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda,
4
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako.
5
Awo abaana ba Alooni banaabyokeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
6
“Era Omuntu bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema.
7
Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekiweebwayo kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama;
8
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe bw'ekiweebwayo kye, n'agittiranga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto.
9
Era bw'anaawangayo ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekyokebwa n'omuliro eri Mukama; anaawangayo amasavu gaayo, omukira omusava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo, n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
10
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba, anaabiggyangako.
11
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto; ng'eky'okulya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
12
“Era bw'anaawangayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama;
13
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu; awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'ekyoto.
14
Awo ku kiweebwayo ekyo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
15
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi ku kibumba anaabiggyangako.
16
Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi.
17
Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27