bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 15
Leviticus 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 16 →
1
Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
2
“Mugambe abaana ba Isiraeri nti omusajja yenna bw'anaabanga n'enziku, nga si mulongoofu olw'enziku ye.
3
Obutali bulongoofu bwe bunaabanga ng'atonnya oba ng'azibikidde olw'enziku ye.
4
Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako era na buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
5
Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6
N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7
N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8
Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; awandiddwako amalusu anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9
N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu.
10
Na buli anaakomanga ku kintu omuziku ky'abadde atuddeko anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Era n'oyo anaakisitulanga anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11
Na buli muziku gw'anaakomagako nga tanaabye ngalo, oyo akomeddwako anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
12
Ekintu eky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga; na buli kintu ky'omuti ky'anaakomangako kinaayozebwanga mu mazzi.”
13
“Era omuziku yenna bw'anaawonanga, aneebaliranga ennaku musanvu okwetukuza; anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta n'alyoka aba omulongoofu.
14
Ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, n'ajja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona.
15
Kabona anaagawangayo; erimu olw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.
16
“Omusajja bw'anaavangamu amazzi ag'obusajja, anaanaabanga omubiri gwonna, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17
Na buli kyambalo oba ddiba erinatonyebwangako amazzi ago kinaayozebwanga ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi.
18
Era omusajja n'omukazi bwe banaamalanga okwegatta bananaabanga n'amazzi ne basigala nga si balongoofu okutuusa akawungeezi.
19
“Omukazi bw'anaabeeranga mu biseera eby'empisa ey'abakazi anaamalanga ennaku musanvu nga yeeyawudde, na buli anaamukomangako anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20
Na buli kintu ky'anaasulangako ne ky'anaatuulangako mu biro by'okweyawula kwe, binaabanga ebitali birongoofu.
21
Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22
Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23
Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu kyonna ekirala ky'atuddeko, oyo akikomyeko anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24
Omusajja yenna bw'aneegattanga naye anaabeeranga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako nakyo kinaabeeranga ekitali kirongoofu.
25
“Omukazi bw'anaavangamu omusaayi ennaku ennyingi nga tali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, oba ng'ayisizza mu biseera bye ebya bulijjo, anaasigalanga nga si mulongoofu ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi nga bw'aba mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.
26
Buli kitanda ky'anaasulangako oba buli ky'anaatuulangako mu nnaku ezo binaabanga ebitali birongoofu.
27
Na buli anaakomanga ku ebyo, anaabanga atali mulongoofu, anaayozanga engoye ze n'anaaba mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28
Omukazi bw'anavaanga mu biro eby'okweyawula kwe okw'embeera y'abakazi, aneebaliranga ennaku musanvu n'alyoka aba omulongoofu.
29
Awo ku lunaku olw'omunaana anaatwalanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
30
Kabona anaawangayo, erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okumutangirira mu maaso ga Mukama olw'obutali bulongoofu bwe.
31
“Bwe mutyo bwe munaalabulanga abaana ba Isiraeri ku butali bulongoofu bwabwe, baleme okubufiiramu n'okwonoonyesa Eweema yange eri wakati mu bo.”
32
Eryo ly'etteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amazzi g'obusajja, agamufuula atali mulongoofu;
33
era ery'omukazi ali mu kweyawula okw'empisa y'abakazi, era n'eryoyo asula n'omukazi atali mulongoofu.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27