bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 10
Leviticus 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 11 →
1
Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako eby'okwoteza, ne bawaayo omuliro omulala Mukama gw'ataalagira.
2
Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira mu maaso ge.
3
Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti, “Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti, ‘Naatukulizibwanga mu abo abampeereza era n'agulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Alooni ne yeesirikira.
4
Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri, kojja wa Alooni, n'abagamba nti, “Musembere, musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye mu Weema entukuvu, mugitwale ebweru w'olusiisira.”
5
Awo ne basembera, ne basitulira emirambo mu ngoye zaagyo ne bagitwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bwe yalagira.
6
Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti, “Temutankuula nviiri zammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era Mukama aleme okusunguwalira ekibiina kyonna; naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya okwo Mukama kw'ayokezza.
7
Temufuluma mu mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa; kubanga amafuta ga Mukama ag'okutukuza gali ku mmwe.” Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.
8
Mukama n'agamba Alooni nti,
9
“Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza kyonna, ggwe n'abaana bo, bwe munaabanga mugenda okuyingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu muleme okufa. Lino linaabanga etteeka eritalijjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna.
10
Mwawulengamu ebya Katonda okuva ku bikozesebwa ebya bulijjo, ebyo ebirongoofu, n'ebitali birongoofu;
11
era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna ge nnabalagira nga mpita mu Musa.”
12
Musa n'agamba Alooni ne batabani be abaasigalawo: Eriyazaali ne Isamaali nti, “Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, era nga tekizimbulukusiddwa, mukiriire ku mabbali g'ekyoto, kubanga kye kitukuvu ennyo;
13
era munaakiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo n'abaana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
14
Naye ekifuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, n'ekisambi ekisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaabiriiranga mu kifo ekirala kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo byabaweebwa okuba omugabo gwammwe ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.
15
Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era binaabanga bibyo, n'abaana bo, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna, nga Mukama bwe yalagira.”
16
Awo Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti,
17
“Lwaki temwaliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo ekitukuvu? Ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu maaso ga Mukama.
18
Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; mwandikiriiridde mu watukuvu, nga bwe nnalagira.”
19
Awo Alooni n'agamba Musa nti, “Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi, n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era onnenyezza olw'ebyo, kale singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?”
20
Kale Musa bwe yawulira ebyo, n'amatira.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27