bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 4
Leviticus 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 5 →
1
Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti,
2
“Gamba abaana ba Isiraeri nti omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo;
3
kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; anaawangayo eri Mukama ente ennume envubuka, eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze.
4
Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'agittira mu maaso ga Mukama.
5
Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri Eweema ey'okusisinkanirangamu;
6
awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'olutimbe olw'awatukuvu.
7
Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
8
Anagiggyangamu amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
9
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako,
10
nga bwe gaggyibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa.
11
Eddiba ly'ente, ennyama, omutwe, amagulu, eby'enda n'obusa bwayo,
12
byonna anaabitwalanga ebweru w'olusiisira, mu ekifo ekyateekebwawo ekiyiibwamu evvu; abyokerenga eyo.”
13
Era ekibiina kyonna ekya Isiraeri bwe kinaasobyanga, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'ekitamanyibwa abasinga obungi mu kibiina, nga bazizza omusango.
14
Amangu ng'ekibi ekyo kye bakoze kimanyiddwa, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, banaagiretanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
15
Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama; ne bagittira mu maaso ga Mukama.
16
Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente mu Weema ey'okusisinkanirangamu;
17
awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama mu maaso g'eggigi.
18
Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
19
Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna n'agookera ku kyoto.
20
Bw'atyo bw'anaakolanga ente eno; kabona anaatangiriranga abantu ne basonyiyibwa.
21
Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente eyolubereberye; kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.
22
“Omukulembeze yenna bw'ayonoonanga, nga tagenderedde mu kigambo kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango;
23
Era bw'anaategeezebwanga ky'ayonoonye, anaaleetanga embuzi ennume eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo kye;
24
awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo olw'ekibi.
25
Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.
26
Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga.
27
“Era omuntu yenna owa bulijjo bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, n'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango;
28
bw'anaategeezebwanga ekibi ky'akoze, anaaleetanga embuzi enkazi eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi kye.
29
Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa.
30
Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
31
Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna nga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.
32
“Era bw'anaaleetanga omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko bulema.
33
Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa.
34
Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
35
Anaggyangamu amasavu gaayo gonna, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro ekya Mukama; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27