bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 7
Leviticus 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 8 →
1
“Era lino ly'etteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: Ky'ekitukuvu ennyo.
2
Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango; n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku njuyi zonna ez'ekyoto.
3
Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda,
4
n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako;
5
awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango.
6
Buli musajja ku bakabona anaakiryangako; kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu; kye kitukuvu ennyo.
7
Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kityo, etteeka lyabyo lye limu; kabona anaakitangirizanga y'anaakitwalanga.
8
Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo.
9
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.
10
Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta oba ekitatabuddwamu, kinaatwalibwanga abaana ba Alooni bonna ne bakigabana kyenkanyi.
11
“Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, omuntu by'anaawangayo eri Mukama.
12
Omuntu bw'anaagiwangayo olw'okwebaza, kale anaagiweerangayo wamu ne ssaddaaka ey'okwebaza, ey'emigaati egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukusiddwa egitabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta obunnyikidde.
13
Ku ssaddaaka ey'emirembe gy'awaayo olw'okwebaza, anaaleterangako n'emigaati egizimbulukusiddwa.
14
Era ku ssaddaaka ey'emirembe anaawangayo omugaati gumu ku buli kiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.
15
Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.
16
Bw'anaawangayo ssaddaaka nga ya bweyamo oba gy'awaayo nga yeeyagalidde, eneeriibwanga ku lunaku olwo lw'agiwaddeyo, era eneefikkangawo eneeriibwanga n'enkya;
17
naye bw'eneefikkanga okutuusa ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga n'omuliro.
18
Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama taagikkirizenga nga ssaddaaka. Eneebanga ya muzizo, era omuntu anaagiryangako anaafuukanga atali mulongoofu.
19
Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwenga; eneeyokebwanga n'omuliro. Ennyama eyo, buli mulongoofu ye anaagiryangako.
20
Naye omuntu atali mulongoofu bw'anaalyanga ku ssaddaaka ey'ekiweebwayo olw'emirembe ekya Mukama anaaboolebwanga okuva mu bantu be.
21
Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu, oba obutali bulongoofu obw'omuntu oba obw'ensolo, oba ekintu ekirala kyonna eky'omuzizo; n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ebya Mukama, anaaboolebwanga okuva mu bantu be.”
22
Mukama n'agamba Musa nti,
23
“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Temulyanga ku masavu ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi.
24
Amasavu g'eyo efa yokka, n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo, ganaabanga ag'emirimu emirala gyonna; temugalyangako n'akatono.
25
Buli alya ku masavu g'ensolo eweebwayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, anaaboolebwanga mu bantu be.
26
Mu nnyumba zammwe zonna, temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, oba gwa nnyonyi oba gwa nsolo.
27
Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, anaaboolebwanga mu bantu be.”
28
Mukama n'agamba Musa nti,
29
“Gamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaawangayo ssaddaaka olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekiweebwayo kye eri Mukama;
30
ye yennyini anaaleetanga ebiweebwayo bya Mukama ebyokebwa n'omuliro mu ngalo ze. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama.
31
Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto; naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be.
32
N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe.
33
Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaatwalanga ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.
34
Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nzigye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, mbiwadde Alooni kabona n'abaana be, okuba omugabo gwabwe emirembe gyonna.
35
Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggyibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, ku lunaku lwe baafukibwako amafuta okuweereza Mukama mu bwakabona.
36
Guno gwe gunaabanga omugabo gwabwe mu mirembe gyabwe gyonna.”
37
Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango, n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe;
38
Mukama lye yalagira Musa, ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yagambirako abaana ba Isiraeri okuwangayo ebiweebwayo byabwe eri Mukama.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27