bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 24
Leviticus 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 25 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi agakenenuddwa mu muzeyituuni ag'okuteekanga mu ttaala, eyakenga bulijjo obutazikira.
3
Buli kawungeezi, Alooni anaagirongoserezanga wabweru w'olutimbe oluli mu maaso g'essanduuko ey'Endagaano, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'agikoleeza n'eyaka obutazikira okutuusa enkeera ng'eri mu maaso ga Mukama.
4
Alooni anaalongoosanga ettaala eyo ng'eri ku kikondo kyayo ekya zaabu ennungi, eyakirenga mu maaso ga Mukama obutazikira.”
5
“Onoddiranga obutta obuŋŋuntiddwa obulungi, n'obufumbamu emigaati kkumi n'ebiri (12), nga buli bitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa bivaamu omugaati gumu.
6
Era onoogitegekanga ku mmeeza eya zaabu ennongoose, mu maaso ga Mukama mu mbu bbiri, buli lubu nga lulimu emigaati mukaaga.
7
Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
8
Buli Ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.
9
Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu; kubanga mitukuvu nnyo gyali, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.”
10
Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe nga Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri; mutabani w'omukazi Omuisiraeri ono n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira;
11
mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya lya Mukama n'akolima; ne bamuleetera Musa. Nnyina nga ayitibwa Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani.
12
Ne bamusiba nga balinda Mukama okubategeeza eky'okumukolera.
13
Mukama n'agamba Musa nti,
14
“Oyo akolimye, mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
15
Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti buli anaakolimiranga Katonda we, anaabangako ekibi kye.
16
N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja; k'abe munnaggwanga oba nzaalwa, bw'anavvoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga.
17
N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa;
18
n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga; obulamu olw'obulamu.
19
Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo;
20
ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo; nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo.
21
N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga; n'oyo anattanga omuntu anattibwanga.
22
Munaabanga n'etteeka limu eri munnaggwanga era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”
23
Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27