bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 18
Leviticus 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 19 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe.
3
Temukolanga ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri gye mwatuulangamu, newakubadde eby'omu nsi ey'omu Kanani gye mbatwalamu, so temutambuliranga mu mpisa zaabwe.
4
Munaakwatanga ebiragiro byange, n'amateeka gange ge munaatambulirangamu. Nze Mukama Katonda wammwe.
5
Kale mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu: Nze Mukama.”
6
“Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okwegatta naye. Nze Mukama.
7
Toswazanga kitaawo nga wegatta ne nnyoko. Nnyoko teweegattanga naye.
8
Teweegattanga na musika wa nnyoko okuswaza kitaawo.
9
Teweegattanga na mwannyoko azaalibwa kitaawo oba azaalibwa nnyoko, abeere nga yazaalibwa waka oba walala.
10
Teweegattanga na muzzukulu wo oba wa mulenzi oba wa muwala.
11
Teweegattanga na muwala wa kitaawo bwe mutagatta nnyammwe. Oyo mwannyoko, teweegattanga naye.
12
Teweegattanga na senga wo, kubanga oyo mwannyina kitaawo.
13
Teweegattanga na muganda wa nnyoko, kubanga oyo naye nnyoko.
14
Teweegattanga na mukazi wa kitaawo omuto. Oyo naye nnyoko.
15
Teweegattanga na muka mwana wo.
16
Teweegattanga na muka muganda wo.
17
Teweegattanga na mukazi ate ne wegatta ne muwala we, so era teweegattanga na muzzukulu we, oba wa mulenzi oba wa muwala; ekyo kibi.
18
Teweegattanga na mukazi wamu ne mugandawe, okuba muggyawe, nga mukazi wo akyali mulamu.
19
Teweegattanga na mukazi ali mu mbeera z'abakazi ez'okweyawula kwabwe.
20
Teweegattanga na muka muliraanwa wo.
21
Towangayo ku zzadde lyo okuba ssaddaaka ey'omuliro eri Moleki, okuvumaganyisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
22
Teweegattanga na musajja nga bwe begatta n'abakazi, ekyo kya muzizo.
23
Omusajja oba omukazi, teyegattanga na nsolo yonna; obwo bugwagwa.”
24
“Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna; kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe;
25
n'ensi eyonoonese; kyenva mbagaanira ddala, ne mbazikiririza ddala okuva mu nsi.
26
Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange, so temukolanga bya mizizo ebyo byonna; enzaalwa oba munnaggwanga atuula mu mmwe.
27
Abasajja abaasooka mu nsi baakola eby'emizizo ebyo byonna ensi n'eyonooneka;
28
nammwe nneme okubagaana, n'okubazikiririza ddala nga bwe nnakola eggwanga ery'abasooka.
29
Omuntu yenna bw'anaakolanga ku by'emizizo ebyo, anaaboolebwanga mu bantu be.
30
Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga mpisa yonna ku ezo ez'omuzizo ezakolebwanga abaabasooka. Nze Mukama Katonda wammwe.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27