bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Leviticus 26
Leviticus 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 27 →
1
“Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde ejjinja eriri mu butonde bwalyo, newakubadde ejjinja eryole okubivuunamiranga; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
2
Mwekuumanga Ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: Nze Mukama.
3
“Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola;
4
kale naabawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
5
Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta.
6
Nabawanga emirembe mu nsi, era muneebakanga nga tewali abatiisa, era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so tewaabenga ntalo mu nsi yammwe.
7
Bwemunaalumbibwanga abalabe munaabattanga n'ekitala.
8
Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga omutwalo; n'abalabe bammwe munaabattanga n'ekitala.
9
Era naabassangako omwoyo, ne muzaala, ne mwala; era naanywezanga endagaano yange nammwe.
10
Era munaalyanga ku bye mwakungula edda bye mwatereka, era munaafulumyanga ebyo ebinaabanga bikyasigaddewo olw'okuyingiza ebiggya.
11
Era nnaabeeranga mu mmwe; so siibakyawenga.
12
Era nnaabeereranga ddala mu mmwe, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.
13
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era nnagyawo ebisiba eby'ekigoligo kyammwe, ne mbatambuza nga muli ba ddembe.”
14
“Naye bwe mutampulirenga, ne mutakola biragiro bino byonna;
15
era bwe munaagaananga amateeka gange, ne mukyawa ebiragiro byange byonna era ne muleka endagaano yange;
16
nange nnaabakolanga bwe nti: nnaalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso nezikoozimbya obulamu bwammwe. Munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga.
17
Era nnaabavangako, nammwe munaawangulwanga abalabe bammwe, ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali abagoba.”
18
“Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
19
Era nnaggyangawo amalala n'okwegulumiza kwammwe, era nnaalagiranga enkuba obutatonnya ku ttaka lyammwe, ne lifuuka olukalajje.
20
Amaanyi gammwe ganaagenderanga busa; kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.
21
Era bwe munaayongeranga okutambulira mu bukakanyavu bwammwe ne mutampulira, ndyongera emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga.
22
Era naabasindikiranga ensolo ez'omu nsiko, ezinaabanyagangako abaana bammwe, era ezinaazikirizanga ebisibo byammwe, era ezinaabakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga.”
23
“Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, ne mweyongera okubeera abakakanyavu gye ndi,
24
nange nnaabeeranga mukakanyavu gye muli era nze mwene, nnaabakubanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
25
Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nnakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, era munaawangulwanga abalabe bammwe.
26
Bwe nnaaleetanga enjala mu mmwe, abakazi ekkumi (10) baneetaaganga ekyoto kimu okufumbirako emmere. Banagipimanga, ne mugirya yonna, naye ne mutakutta.”
27
“Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gyendi, ne mweyongera okubeera abakakanyavu gyendi;
28
nange n'abeeranga mukakanyavu gye muli; era nnaababonerezanga n'ekiruyi emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
29
Munaalumwanga nnyo enjala, ne mutuuka n'okulyanga abaana bammwe.
30
Era nnaazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu, ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba bye musinza, n'emirambo gyammwe ginaagwanga ku bifaananyi byammwe, era n'obulamu bwange bunaabakyawanga.
31
Naazisanga ebibuga byammwe, era nnaafuulanga ebifo byammwe bye musinzizaamu okuba amalungu; siisanyukirenga kaloosa ak'ebiweebwayo byammwe.
32
Era nnaafuulanga ensi yammwe eddungu; n'abalabe bammwe abalijja okugibeeramu banaagyewuunyanga.
33
Nammwe nnaabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera; n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga.
34
Awo ensi n'eryokanga esanyukira ennaku zaayo ez'okuwummuza ettaka, naye nga mmwe muwaŋŋangukidde mu nsi ey'abalabe bammwe.
35
Ensi eneezikanga n'eba n'okuwummula kw'etandibadde nakwo nga mukyagirimu.
36
N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, banaakeŋŋentererwanga mu mitima, era n'akakoola akagwa kanaabaddusanga. Banaddukanga ng'omuntu bw'adduka olutalo, era banaagwanga nga tewali abagoba.
37
Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka olutalo, nga tewali abagoba; so tebaabenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe.
38
Era munaafiiranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga.
39
N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakenenanga mu nsi y'abalabe baabwe olw'obutali butuukirivu bwabwe n'obwa bajjajjaabwe.”
40
“Naye bwe banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe bwe bansobyako nga tebatambula nange;
41
ekyandeetera okubaleka okuwangulwa abalabe baabwe; naye bwe baneetoowazanga mu mitima gyabwe, ne bategeere okusobya kwabwe okw'obutali butuukirivu bwabwe,
42
awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo ne Isaaka, ne Ibulayimu; era najjukiranga ensi yaabwe.
43
Era ensi eneewummulanga n'ezika olw'okubonerezebwa okw'obutali butuukirivu bwabwe, olw'okugaana okukwata ebiragiro byange n'amateeka gange.
44
Newakubadde ebyo binaabanga bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi y'abalabe baabwe siibaviirengako ddala, siibakyawenga era siibazikiririzenga ddala, olw'endagaano yange gye nnalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.
45
Ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe, be najja mu nsi ey'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: Nze Mukama.”
46
Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri, ku lusozi Sinaayi ng'ayita mu Musa.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27